Isaaya61lug_bib

Amawulire Amalungi ag’Obulokozi

1Omwoyo wa Mukama Katonda ali ku nze,kubanga Mukama anfuseeko amafuta okubuulira abaavu n’abali obubi ebigambo ebirungi,antumye okuyimusa abalina emitima egimenyese.Okulangirira eddembe eri abawambe,n’abasibe bateebwebave mu makomera.2Okulangirira omwaka gwa Mukamaogw’okulabiramu obulungi bwe;olunaku lwa Mukama olw’okuwalanirako eggwangaera n’okuzzaamu amaanyi abo bonna abakungubaga.3Okugabirira abo bonna abali mu Sayuuni abakungubaga,okubawa engule ey’obubalagavu mu kifo ky’evvu,n’amafuta ag’essanyu mu kifo ky’ennaku.Ekyambalo ky’okutenderezamu kifo ky’omwoyo w’okukeŋŋeentererwabalyoke bayitibwe miti gy’abutuukirivu, ebisimbe bya Mukama,balyoke baweebwe ekitiibwa.
4Baliddamubazimbe ebyali bizise,balirongoosa ebibugaebyali byerabirwa edda.5Abaamawanga balibalundira ebisibo byammwe,abagwira babakolere mu nnimiro zammwe ne mu nnimiro z’emizabbibu.6Era muyitibwe bakabona ba Mukama,abantu baliboogerako ng’abaweereza ba Mukama,mulirya obugagga bw’amawanga,era mu bugagga bwabwe mwe mulyenyumiririza.
7Mu kifo ky’ensonyi,abantu bange baliddizibwawo emirundi ebiri.Mu kifo ky’okuswalabasanyuke olw’ebyo bye balifunaera balifuna omugabo gwa mirundi ebiri,essanyu lyabwe liribeerera emirembe gyonna.
8“Kubanga nze, Mukama, njagala obwenkanya,nkyawa okunyaga era n’obutali butuukirivu.Mu bwesigwa bwange ndibasasulaera nkole nabo endagaano ey’emirembe n’emirembe.9N’ezzadde lyabwe liritutumuka nnyo mu mawangan’abaana baabwe eri abantu.Abo bonna abalibalaba balibamanya,nti bantu Mukama be yawa omukisa.”
10Nsanyukira nnyo mu Mukama,emmeeme yange esanyukira mu Katonda wange.Kubanga annyambazizza ebyambalo eby’obulokoziera n’anteekako n’omunagiro ogw’obutuukirivu,ng’omugole omusajja bw’ayambala engule nga kabona,ng’omugole omukazi bw’ayambala amayinja ge ag’omuwendo.11Kuba nga ettaka bwe livaamu ebimera,era ng’ennimiro bwereetera ensigo okumeruka,bw’atyo Mukama Katonda bwalireeta obutuukirivu n’ettendo okumeruka,ensi zonna zikirabe.