1Ekigambo kya Mukama ekyajjira Zeffaniya mutabani wa Kuusi, muzzukulu wa Gedaliya, muzzukulu wa Amaliya, muzzukulu wa Keezeekiya, mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, Kabaka wa Yuda.
Okulabula kw’Omusango n’Okuzikirizibwa kwa Yuda
2“Ndizikiririza ddala byonna okuva ku nsi,” bw’ayogera Mukama.3“Ndizikiriza abantu wamu n’ensolo;ndizikiriza ebinyonyi eby’omu bbangan’ebyennyanja;ababi balisigaza ntuumu ya kafakalimbo;bwe ndimalawo abantu okuva ku nsi,”bw’ayogera Mukama.4Ndigololera ku Yuda omukono gwange,era ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi;era ekitundu kya Baali ekifisseewo n’ennyumba ya Bakemali,bakabona abasinza ebifaananyi, ndibazikiriza okuva mu kifo kino,5abo abavuunamira eggye ery’omu gguluku nnyumba waggulu,ne balisinza n’abo abalayira mu linnya lya Mukama,ate nga balayira ne mu linnya lya Malukamu,6abo abadda emabega obutagoberera Mukama,wadde abo abatamunoonya newaakubadde okumwebuuzaako.7Siriikirira awali Mukama Katonda,kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi.Mukama ategese ssaddaaka,era atukuzizza abagenyi be.8Ku lunaku olwa ssaddaaka ya Mukama,ndibonereza abakungun’abaana ba Kabaka,n’abo bonna abambaddeebyambalo ebitasaana.9Awo ku lunaku olwo ndibonerezaabo bonna abeewala okulinnya ku muziziko,n’abo abajjuza ennyumba ya Mukama waabweebikolwa eby’obukambwe n’obulimba.10Ku lunaku olwo, bw’ayogera Mukama,eddoboozi ery’okukaaba liriwulikika ku Mulyango ogw’Ebyennyanja,okukaaba okuva ku luuyi olwokubiri,n’okubwatuka okunene okuva ku nsozi.11Mwekaabireko, mmwe abali mu matwale g’akatale;abasuubuzi bammwe bonna zibasanze,n’abo abeebinika ffeeza balizikirizibwa.12Awo olulituuka mu biro ebyo ndimulisa Yerusaalemi n’ettabaaza nga nnoonya,mbonereze abo bonna abalagajjavuabali ng’omwenge ogutanasengejjebwa,abalowooza nti Mukamatalibaako ne ky’akolawo.13Obugagga bwabwe bulinyagibwa,n’ennyumba zaabwe zimenyebwemenyebwe.Ne bwe balizimba ennyumbatebalizituulamu,era balisimba ennimiro ez’emizabbibu nazotebalinywa wayini wamu.