Zabbuli70lug_bib

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza.

1Ayi Katonda oyanguwa okundokole.Ayi Mukama oyanguwe okumbeera.
2Abo abannoonya okunzitabatabulwetabulwe;abo abannoonya okunzikiriza,bagobebwe nga baswadde.3Abagamba nti, “Kasonso,”badduke nga bajjudde ensonyi.4Naye bonna abakunoonyabasanyukenga bajagulizenga mu ggwe.Abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti,“Katonda agulumizibwenga!”
5Naye nze ndi mwavu era ndi mu kwetaaga;oyanguwe okujja gye ndi, Ayi Katonda.Ggwe onnyamba era ggwe ondokola,Ayi Mukama, tolwa!