Zabbuli63lug_bib
Zabbuli ya Dawudi, bwe yali mu ddungu lya Yuda.
1Ayi Katonda, oli Katonda wange,nkunoonya n’omutima gwange gwonna;emmeeme yange ekwetaaga,omubiri gwange gwonna gukuyaayaanira,nga nnina ennyonta ng’alimu nsi enkalu omutali mazzi.2Nkulabye ng’oli mu kifo kyo ekitukuvu,ne ndaba amaanyi go n’ekitiibwa kyo.3Kubanga okwagala kwo okutaggwaawo kusinga obulamu;akamwa kange kanaakutenderezanga.4Bwe ntyo nnaakutenderezanga obulamu bwange bwonna;nnaayimusanga emikono gyange mu linnya lyo.5Emmeeme yange enekkutanga ebyassava n’obugagga;nnaayimbanga nga nkutendereza n’emimwa egy’essanyu.6Nkujjukira nga ndi ku kitanda kyange,era nkufumiitirizaako mu ssaawa ez’ekiro.7Olw’okuba ng’oli mubeezi wange,nnyimba nga ndi mu kisiikirize ky’ebiwaawaatiro byo.8Emmeeme yange yeekwata ku ggwe;omukono gwo ogwa ddyo gumpanirira.9Naye abo abannoonya okunzita balizikirizibwa,baliserengeta emagombe.10Balisaanawo n’ekitala;ne bafuuka emmere y’ebibe.11Naye ye kabaka anaajagulizanga mu Katonda;bonna abalayira mu linnya lya Katonda banaatenderezanga Katonda,naye akamwa k’abalimba kalisirisibwa.