Zabbuli52lug_bib

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Dowegi Omwedomu bwe yagenda n’abuulira Sawulo nti, “Dawudi alaze mu nnyumba ya Akimereki.”

1Lwaki weenyumiririza mu kibi ggwe omusajja ow’amaanyi?Endagaano ya Katonda ey’obwesigwa ebeerera emirembe n’emirembe.2Oteekateeka enkwe ez’okuzikiriza.Olulimi lwo lwogi nga kkiritaera buli kiseera lwogera bya bulimba.3Oyagala okukola ebibi okusinga okukola ebirungi,n’okulimba okusinga okwogera amazima.4Osanyukira nnyo okwogera ebirumya.Ggwe olulimi kalimbira!
5Kyokka Katonda alikuzikiriza emirembe gyonna;alikusikula, akuggye mu maka go;alikugoba mu nsi y’abalamu.6Bino abatuukirivu balibiraba, ne babitunuulira nga batidde.Naye balikusekerera, nga bwe bagamba nti,7“Mumulabe omusajjaateesiga Katonda okuba ekiddukiro kye,naye ne yeesiganga obugagga bwe obungi,ne yeeyongera n’amaanyi ng’azikiriza abalala.”
8Naye nze nfaanana ng’omuti omuzeyituuniogukulira mu nnyumba ya Katonda.Neesiga okwagala kwa Katonda okutaggwaawoemirembe n’emirembe.9Nnaakwebazanga emirembe gyonna olw’ekyo ky’okoze.Nneesiganga erinnya lyo kubanga erinnya lyo ddungi;era nnaakutendererezanga awali abatuukirivu bo.