Zabbuli32lug_bib

Zabbuli ya Dawudi.

1Alina omukisa oyoasonyiyiddwa ebyonoono byeekibi ne kiggyibwawo.2Alina omukisa omuntu oyoMukama gw’atakyabalira kibi kye,ne mu mutima gwe nga temuli bukuusa.
3Bwe nasirikiranga ekibi kyange,ne nkogga,kubanga nasindanga olunaku lwonna.4Wambonerezangaemisana n’ekiro,amaanyi ne ganzigwamung’amazzi bwe gakalira mu kyeya.
5Awo ne nkwatulira ekibi kyange,ne sibikkirira kwonoona kwange.Ne njogera nti,“Leka neenenyeze Mukama ebibi byange.”Bw’otyo n’onsonyiwa,n’onziggyako omusango gw’ebibi byange.
6Noolwekyo abaweereza bo bonna abeesigwabakwegayirire ng’okyalabika;oluvannyuma ebizibu bwe birijja,ng’amazzi ag’amaanyi amangi tebiribatuukako.7Oli kifo kyange mwe nneekweka,ononkuumanga ne situukwako kabiera ononneetooloozanga ennyimba ez’obulokozi.
8Nnaakulagiranga era ne nkuyigiriza ekkubo mw’onootambuliranga;nnaakuwanga amagezi nga bwe nkulabirira.9Temubeeranga ng’embalaasioba ennyumbu ezitategeera,ze bateekwa okussa ekyuma mu kamwa ekisibwa ku lukoba,ziryoke zifugibwe zijje gy’oli.10Ababi balaba ennaku nnyingi;naye abeesiga Mukama bakuumirwamu kwagala kwe okutaggwaawo.
11Musanyukire mu Mukama era mujaguze mmwe abatuukirivu,era muyimbire waggulu n’essanyu mmwe abalina omutima omulongoofu.