Zabbuli23lug_bib
Zabbuli ya Dawudi.
1Mukama ye Musumba wange, seetaagenga.2Angalamiza ne mpummulira mu ddundiro ly’omuddo omuto.Antwala awali amazzi amateefu.3Akomyawo emmeeme yange.Annuŋŋamya okukola eby’obutuukirivuolw’erinnya lye.4Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna;kubanga ggwe oli nange.Oluga lwo n’omuggo gwobye binsanyusa.5Onsosootolera emmereabalabe bange nga balaba;onsiize amafuta ku mutwe,ekikompe kyange kiyiwa.6Ddala ddala obulungi n’okwagala okutaggwaawo binaagendanga nangeennaku zonna ez’obulamu bwange;nange nnaabeeranga mu nnyumba ya Mukama,ennaku zonna.No translations available.