Zabbuli134lug_bib
Oluyimba nga balinnya amadaala.
1Mulabe, mutendereze Mukama, mmwe mwenna abaddu ba Mukama,abaweereza ekiro mu nnyumba ya Mukama.2Mugolole emikono gyammwe mu kifo ekitukuvu,mutendereze Mukama.3Mukama eyakola eggulu n’ensiakuwe omukisa ng’asinziira mu Sayuuni.