Zabbuli131lug_bib
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
1Ayi Mukama siri wa malala,so n’amaaso gange tegeegulumiza.Siruubirira bintu binsukiriddenewaakubadde ebintu eby’ekitalo ebinsinga.2Naye ŋŋonzezza emmeeme yange era ngisiriikirizzang’omwana bw’asiriikirira nga nnyina amuggye ku mabeere.Omwana avudde ku mabeere nga bw’asiriikirira, n’emmeeme yange bw’eri bw’etyo.3Ayi Isirayiri, weesigenga Mukamaokuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.