Zabbuli125lug_bib

Oluyimba nga balinnya amadaala.

1Abeesiga Mukama bali ng’olusozi Sayuuniolutayinza kusiguukululwa, naye olubeerawo emirembe gyonna.2Ensozi nga bwe zeetooloola Yerusaalemi,ne Mukama bw’atyo bwe yeetooloola abantu be,okuva kaakano n’okutuusa emirembe gyonna.
3Kubanga abafuzi abakola ebibi tebalifugiramu nsi y’abatuukirivu,baleme okuwaliriza abatuukirivuokukola ebibi.
4Ayi Mukama, abalungi n’abo abalina omutima omulongoofubakolere ebirungi.5Naye abo abalaga mu makubo gaabwe amakyamu,Mukama alibawaŋŋangusa wamu n’abakola ebitali bya butuukirivu.Emirembe gibe ku Isirayiri.