Zabbuli100lug_bib
Zabbuli ey’okwebaza.
1Muleetere Mukama eddoboozi ery’essanyu mmwe ensi zonna.2Muweereze Mukama n’essanyu;mujje mu maaso ge n’ennyimba ez’essanyu.3Mumanye nga Mukama ye Katonda;ye yatutonda, tuli babe,tuli bantu be era endiga ez’omu ddundiro lye.4Muyingire mu miryango gye nga mwebaza,ne mu mpya ze n’okutendereza;mumwebaze mutendereze erinnya lye.5Kubanga Mukama mulungi, n’okwagala kwe kwa lubeerera;n’obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.