Engero17lug_bib
1Okulya akamere akaluma awali emirembe,kisinga okuba mu nnyumba ejjudde ebyassava nga mulimu entalo.2Omuddu omugezi alifuga omwana wa bowo akwasa ensonyi,era alifuna ebyobusika ng’omu ku baana b’awaka.3Entamu erongoosa yakolebwa lwa ffeeza, n’ekikoomi ky’okulongoosa lwa zaabu,naye Mukama agezesa emitima.4Omubi assaayo omwoyo eri eby’obulimba,era n’omulimba awuliriza olulimi olukuusa.5Oyo akudaalira omwavu avvoola eyamutonda,n’oyo asanyukira obuyinike bw’abalala talirema kubonerezebwa.6Abazzukulu ngule ya bajjajjaabwe,era n’abaana beenyumiririza mu bakadde baabwe.7Enjogerannungi teba ya musirusiru,ng’oweekitiibwa bw’atasaana kwogera bya bulimba.8Enguzi eri ng’ejjinja ery’omufuusa mu maaso g’oyo agigaba,alowooza nti buli gy’akyukira eneemuyamba.9Okwagala tekulondoola nsobi,naye oyo atasonyiwa nsobi akyawaganya ab’omukwano enfirabulago.10Okunenya kuyamba nnyo omuntu ategeera,okusinga okukuba omusirusiru embooko ekikumi.11Omukozi w’ebibi anoonya bujeemu bwereere,era kyaliva asindikirwa omubaka omukambwe.12Okusisinkana eddubu enyagiddwako abaana baayo,kisinga okusisinkana omusirusiru mu busirusiru bwe.