Mikka6lug_bib
1Muwulire Mukama by’ayogera ng’agamba nti,“Muyimuke leero tuwoze ensonga zammwe mu maaso g’ensozi,n’obusozi buwulire bye mugamba.2“Kaakano mmwe ensozi muwulire Mukama ky’abavunaana;nammwe emisingi gy’ensi egy’olubeerera muwulire.Mukama alina ensonga ku bantu beera agenda kuwawabira Isirayiri.3“Mmwe abantu bange kiki kye nnali mbakoze?Nnali mbazitooweredde? Munziremu.4Nabaggya mu nsi ye Misirine mbanunula mu nsi ey’obuddu,ne mbawa Musa,ne Alooni ne Miryamu okubakulembera.5Mmwe abantu bange mujjukireekigendererwa kya Balaki kabaka wa Mowaabun’ebigambo, Balamu omwana wa Byoli bye yayogera.Mujjukire bye nabakolera okuva e Sittimu okutuuka e Girugaalimulyoke mumanye ebikolwa bya Mukama eby’obutuukirivu.”6Mwebuuza nti kiki kye nnaaleeta mu maaso ga Mukamanvuuname mu maaso ga Katonda agulumizibwa?Mmusemberere n’ebiweebwayo ebyokebwa,n’ennyana ezaakamala omwaka ogumu?7Mukama alisiima endiga eza sseddume olukumi,oba emitwalo gy’emigga gy’amafuta?Mpeeyo omwana wange omubereberye olw’ebibi byange,nga mpaayo ekibala ky’omubiri gwange olw’ekibi eky’emmeeme yange?8Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola.Kaakano, Mukama kiki ky’akwetaaza,okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisaera n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.9Wuliriza, Mukama akoowoola ekibuga mu ddoboozi ery’omwanguka.“Kya magezi ddala okutya erinnya lye,n’okussaayo omwoyo eri okukangavvula n’eri oyo akangavvula.10Nnyinza okwerabira eby’obugagga bye mwefunira,mmwe ennyumba erina obutali butuukirivu,erina n’ekigera ekitatuuka eky’omuzizo?11Nnyinza okusonyiwa omuntu alina ebigera ebitatuuse,alina ensawo ez’ebipimo eby’obulimba?12Abagagga baakyo bakambwen’abatuuze baamu balimban’ennimi zaabwe tezoogera mazima.13Nange kyenvudde ntandika okukuzikiriza,nkumalewo olw’ebibi byo.14Onoolyanga, naye n’otokutta,era olubuto lwo lulisigala lutokota nga lukubanja.Oligezaako okukuŋŋaanya, weeterekere, naye tolibaako na kimu ky’oterekakubanga byonna ndibiwaayo eri ekitala.15Olisiga naye tolikungula,oligezaako okusogola emizeeyituuni weggyiremu amafuta naye tolifuna mafuta gamala kusaabako,olisogola emizabbibu naye toliggyamu kyakunywa.16Olw’okuba ng’okolera ku biragiro bya Omulin’ogoberera n’ebikolwa byonna eby’ennyumba ya Akabun’ogoberera n’emizizo gyabwe,kyendiva nkufuula ekifulukwa,n’abantu bo bonna babeere eky’okuduulirwaera olibaako ekivume ky’amawanga.”