Mikka1lug_bib
1Mu mirembe Yuda gye yagenda efugibwa bakabaka bano: Yosamu, ne Akazi, ne Keezeekiya, Mikka eyali Omumolasuuti, yafuna obubaka obuva eri Mukama, obukwata ku kibuga Samaliya ne Yerusaalemi.2Muwulire mmwe abantu mwenna,muwulire mmwe ebintu byonna ebiri mu nsi, ne bonna abagirimu,Mukama Ayinzabyonna asinziira mu yeekaalu ye entukuvu,ng’alina by’abalumiriza.3Mulabe, Mukama ajja ng’ava mu ggulu ku ntebe yeng’akka ku nsi ng’atambulira ku nsozi waggulu.4N’ensozi zirisaanuukira wansi w’ebigere byeera n’ebiwonvu ne byatika ne bisaanuukang’ebisenge by’emizindu by’enjuki ebyokeddwa omuliro,ng’amazzi g’ekiyiriro bwe gakulukuta ku lusozi nga gayirira ku bbangabanga.5Bino byonna biribeerawo olw’okwonoona kwa Yakobo,olw’ebibi by’ennyumba ya Isirayiri.Ekibi kya Yakobo kye kiruwa?Si ye Samaliya?Kifo ki ekigulumivu ekya Yuda?Si Yerusaalemi?6“Noolwekyo nzija kubetenta Samaliya ngifuule ebifunfugu,kifuuke nga ennimiro ey’okusimbamu emizabbibu.Ndiyiwa amayinja gaakyo mu kiwonvuN’emisingi gyakyo ne ngireka nga gyasamye.7Bakatonda baakyo bonna be basinza, balisekulwasekulwa;ebintu byonna ebyaweebwayo ng’ebirabo mu yeekaalu biriggya omuliro;ndizikiriza bakatonda baakyo bonna be beekolera.Ng’ebirabo ebyo bwe byafunibwa mu bwenzi,bwe bityo bwe biritwalibwa mu bwenzi ne bikozesebwa.”