Lukka1lug_bib
1Abantu bangi bagezezzaako okuwandiika ebyafaayo ebyatuukirizibwa mu ffe,2ng’abo abaasooka edda bwe baabitubuulira, nga be baali abajulirwa era abaweereza b’Ekigambo okuviira ddala ku lubereberye.3Bwe ntyo bwe mmaze okukakasiza ddala buli kintu n’obwegendereza okuva ku by’olubereberye okutuukira ddala ku byasembayo, ne ndaba nga kirungi okukuwandiikira ggwe Teefiro ow’ekitiibwa ennyo, ndyoke mbikuwandiikire nga bwe byaliraanagana.4Olyoke omanye amazima g’ebyo bye wayigirizibwa.