Okukungubaga1lug_bib

Yerusaalemi Kifuuse Matongo

1Ekibuga ekyajjulanga abantu nga kyabuliddwa!Ekyabanga eky’amaanyi mu mawanga,nga kifuuse nga nnamwandu!Eyali kabaka omukazi ng’alina amasaza,afuuse omuddu omukazi.
2Ekiro akaaba nnyo nnyini,n’amaziga ne gakulukuta ku matama ge.Mu baganzi be bonna,talina n’omu amubeesabeesa.Mikwano gye bonna bamuliddemu olukwe,bafuuse balabe be.
3Yuda agenze mu buwaŋŋanguseoluvannyuma lw’okubonaabona n’okukozesebwa n’obukambwe ng’omuddu.Kati abeera mu bannamawanga,talaba kifo kya kuwummuliramu.Bonna abamunoonya bamusangamu nnaku ye.
4Enguudo za Sayuuni zikungubaga,kubanga tewali n’omu ajja ku mbaga zaakyo ezaalagibwa.Emiryango gye gyonna girekeddwa awo,bakabona be, basinda;bawala be abaweereza bali mu buyinike,naye yennyini ali mu nnaku.
5Abamuyigganya bafuuse bakama be;abalabe be beeyagala,kubanga Mukama amuleeseeko ennaku,olw’ebibi bye ebingi.Abaana be batwalibbwa mu buwaŋŋanguse,bawambiddwa omulabe.
6Ekitiibwa kyonna ekyali ku muwala wa Sayuunikimuweddeko,abalangira be bafuuse ng’ennangaaziezibuliddwa omuddo;mu bunafu,badduse ababagoba.
7Mu nnaku ez’okubonaabona kwe ng’asagaasagana,Yerusaalemi ajjukira ebintu eby’omuwendo byonnabye yalinanga mu nnaku ez’edda.Abantu be bwe baagwa mu mikono gy’omulabe,tewaali n’omu amubeera;abalabe be ne bamutunuulirane bamusekerera olw’okugwa kwe.
8Yerusaalemi yayonoona nnyo nnyini,bw’atyo n’afuuka atali mulongoofu.Bonna abaamussangamu ekitiibwa bamunyooma,kubanga balabye bw’asigalidde awo;ye yennyini asinda,era akwatibwa ensonyi.
9Obutali bulongoofu bwe bwali mu birenge bye;teyassaayo mwoyo ku bulamu bwe obw’ebiseera ebijja.Okugwa kwe kwali kwa kyewuunyo;tewaali n’omu amubeesabeesa.“Ayi Mukama, tunuulira okubonaabona kwange,kubanga omulabe awangudde.”
10Omulabe yagololera omukonoku bintu bya Yerusaalemi byonna eby’omuwendo;yalaba amawanga amakaafiiringa gayingira awatukuvu we,beebo be wali ogaanyeokuyingira mu kuŋŋaaniro lyo.
11Abantu be bonna basindanga bwe banoonya ekyokulya;eby’obugagga byabwe babiwanyisaamu emmere,okusobola okuba abalamu.“Laba, Ayi Mukama Katonda, onziseeko omwoyokubanga nnyoomebwa.”
12“Mmwe tekibakwatako, mmwe mwenna abayitawo?mwetegereze mulabeobanga waliwo obuyinike obwenkana,obwantukako,Mukama bwe yanteekakoku lunaku olw’obusungu bwe obungi.
13“Yaweereza omuliro okuva waggulu,ne gukka mu magumba gange.Yatega ebigere byange akatimba,n’anzizaayo emabega.Yandeka mpuubadde,nga nzirise olunaku lwonna.
14“Ebibi byange binfuukidde ekikoligo;bisibiddwa ne binywezebwa omukono gwe.Binzitoowerera mu bulago,era bimmazeemu amaanyi.Mukama ampaddeyo mu mikono gy’abobe siyinza kugumiikiriza.
15“Mukama anyoomyeabalwanyi abazira bonna abaali nange;akuŋŋaanyizza eggye okunwanyisa,okuzikiriza abavubuka bange.Mukama alinnyiridde Omuwala Embeerera owa Yuda,ng’omuntu bw’asambirira ezabbibu mu lyato ng’asogola.
16“Kyenva nkaaba,amaaso gange ne gajjula amaziga,kubanga tewali n’omu andi kumpi okumbeesabeesa,ayinza okunzizaamu amaanyi.Abaana bange banakuwavukubanga omulabe awangudde.”
17Sayuuni agolola emikono gye,naye tewali n’omu amudduukirira.Mukama awadde ekiragiro ku Yakobobaliraanwa be babeere balabe be;Yerusaalemi afuuseekintu ekitali kirongoofu wakati mu bo.
18“Mukama mutuukirivu,newaakubadde nga najeemera ekiragiro kye.Muwulirize mmwe amawanga gonna,mutunuulire okubonaabona kwange;Abavubuka bange ne bawala bangebatwalibbwa mu busibe.
19“Nakoowoola bannange bannyambe,naye tebanfaako;bakabona bange n’abakadde b’ekibuga kyangebazikiririra mu kibuganga banoonya ekyokulyabaddemu amaanyi.
20“Laba, Ayi Mukama Katonda bwe ndi omunakuwavu!Ndi mu kubonaabona,n’omutima gwange tegutereddekubanga njeemye nnyo ekiyitiridde.Ebweru ekitala kirindiridde okunsanyaawo,ne mu nnyumba mulimu kufa kwereere.
21“Abantu bawulidde okusinda kwange,naye tewali n’omu ananyamba.Abalabe bange bonna bawulidde okusinda kwange;basanyukidde ekyo ky’okoze.Olunaku lwe walangirira,lubatuukeko, babeere nga nze.
22“Obabonereze olw’obutali butuukirivu bwabwe bwonna,nga nze bwe wambonereza.Okusinda kwange kungin’omutima gwange guzirika.”