Yona2lug_bib

Okusaba kwa Yona

1Awo Yona n’asinziira mu kyennyanja n’asaba Mukama Katonda we, ng’agamba2nti,“Mu nnaku yange ennyinginakaabirira Mukama n’anziramu;mu buziba ewala mu magombe nakukoowoola,era n’owulira eddoboozi lyange!3Kubanga wansuula ewala mu buziba mu nnyanja,ne nzika, amayengo gonna,ensozi n’ensozi z’amazzi ebikuntane bimbikkane binneetooloola.4Ne ndyoka njogera nti, ‘Ngobeddwamu maaso go;Ddala ndiddayo nateokulaba yeekaalu yo entukuvu?’5Nakkira ddala ku ntobo wansi w’amayengo, okufa ne kumbeerera ddala kumpi;Amazzi nga ganneetooloddeera ng’omuddo gw’omu nnyanja gunneezingiridde ku mutwe.6Ne ŋŋendera ddala ku ntobo, ensozi z’omu nnyanja gye zisibuka, eyo,ensi n’ensibirayo emirembe n’emirembe.Naye ggwe Mukama Katonda wange, onzigye mu bunnya,Ayi Mukama Katonda wange.
7“Bwe nnali nga mpweddemu essuubi, emmeeme yange ng’ezirikane nkujjukira, Ayi Mukama Katonda.Awo okusaba kwange entakeera ne kutuukamu yeekaalu yo entukuvu.
8“Abo abassaayo omwoyo ku balubaale ne bakatonda abataliimu ne babasinza,beefiiriza okusaasirwa kwa Katonda okubalindiridde!9Naye nze, n’oluyimba olw’okukutendereza,ndikuwa ssaddaaka.Ddala ndituukiriza obweyamo bwangekubanga obulokozi buva eri Mukama Katonda.”10Awo Mukama Katonda n’alagira ekyennyanja ne kiwandula Yona n’agwa ettale ku lukalu.