Yoweeri1lug_bib
1Buno bwe bubaka bwa Mukama obwajjira Yoweeri mutabani wa Pesweri.2Muwulirize mmwe abakadde ba Isirayiri,buli ali mu nsi naye awulirize.Kino kyali kibaddewo mu biseera byammwe,oba mu biseera bya bakitammwe?3Mukibuulire abaana bammwe,nabo balikibuulira abaana baabwe,nabo balikibuulira ab’emirembe egiriddawo.4Ebibinja by’enzige ebisooka bye zitalidde,enzige eziddirira zibirumbye,ate ezo bye zireseewo,enzige ento bye ziridde,ate zino bye zireseewo,enzige endala ne zibizikiririza ddala byonna!5Muzuukuke, mmwe abatamiivu, mwekaabire amaziga;mukube ebiwoobe mmwe mwenna abanywi b’omwenge,mukube ebiwoobe kubanga akamwa kammwekatuuse okwerabira omwenge omusu.6Eggwanga lirumbye ensi yange,ery’amaanyi ennyo era ery’abantu abatabalika.Amannyo gaalyo gali ng’ag’empologoma,n’amasongezo gaalyo ng’ag’empologoma enkazi.7Eggwanga eryo lizikirizza emizabbibu gyange,ne limalawo emitiini gyange.Lisusumbudde ebikuta byagyo,byonna biri ku ttaka,amatabi gaagyo gasigadde gatukuuliridde.8Mukungubage nga nnamwandu omuto afiiriddwa bba,ng’ayambadde ebibukutu olw’ennaku.9Ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke n’ebiweebwayo eby’okunywatewakyali kirabikako mu nnyumba ya Mukama.Bakabona abaweerereza mu maaso ga Katondabakungubaga.10Ennimiro ziweddemu ebirime;ettaka likaze,Emmere ey’empeke eweddewo,omwenge omusu n’amafuta g’emizeeyituuni ne bibulira ddala.11Mmwe abalimi mukwatibwe entiisa,mmwe abalima emizabbibu mukaabe.Mukaabire eŋŋaano ne sayiri,kubanga ebyandikunguddwa byonna biweddewo.12Omuzabbibu gukazen’omutiini guyongobedde.Omukomamawanga, n’olukindu ne apon’emiti gyonna egy’omu nnimiro giwotose.Abantu tebakyalina ssanyu.