Yobu27lug_bib
1Yobu n’ayongera okwogera kwe bw’ati nti,2“Nga Katonda bw’ali omulamu, agaanye okusala ensonga yange mu mazima,oyo Ayinzabyonna, aleetedde emmeeme yange okulumwa,3gye nkomye okuba nga nkyalina obulamu mu nze,omukka gwa Katonda nga gukyali mu nnyindo zange,4emimwa gyange tegijja kwogera butali butuukirivu,era olulimi lwange terujja kwogera bulimba.5Sirikkiriza nti muli batuufu;okutuusa lwe ndifa, siryeggyako bugolokofu bwange.6Nzija kwongera okunywerera ku butuukirivu bwange obutabuleka;omutima gwange tegunsalira musango nga nkyali mulamu.7“Abalabe bange babeere ng’abakozi b’ebibi,n’abo abangolokokerako babeere ng’abatali batuukirivu!8Kubanga ssuubi ki oyo atalina Katonda ly’aba nalyo ng’asaliddwako,nga Katonda amuggyeko obulamu?9Katonda awulira okukaaba kweng’ennaku emujjidde?10Alifuna essanyu mu oyo Ayinzabyonna?Aliyita Katonda ebbanga lyonna?11Nzija kubayigiriza ebikwata ku maanyi ga Katonda;ebikwata ku oyo Ayinzabyonna sijja kubikweka.12Weekalirize bino byonna bye mwerabiddeko,lwaki kaakano okwogera ebyo ebitalina makulu?