Yeremiya8lug_bib

1“Mu kiseera ekyo, bw’ayogera Mukama, amagumba ga bakabaka ba Yuda, n’amagumba g’abalangira, n’amagumba ga bakabona, n’amagumba ga bannabbi, n’amagumba g’abatuuze b’omu Yerusaalemi galiggyibwa mu ntaana zaago.2Kale galyanikibwa mu musana, eri omwezi n’emmunyeenye ez’omu ggulu, ze baayagala era ne baaweereza era ze baagoberera ne beebuuzaako ne basinza. Tebalikuŋŋaanyizibwa wadde okuziikibwa naye balibeera ng’ebisasiro wansi ku ttaka.3N’abantu b’ensi eno ennyonoonyi bw’etyo abalisigalawo, be ndiba nsasaanyizza mu mawanga, balyegomba okufa okusinga okuba abalamu,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.

Ekibi n’Okubonerezebwa

4“Bategeeze nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,“Omuntu bw’agwa, tayimuka?Oba omuntu bw’ava mu kkubo ettuufu, takyusa n’adda?5Kale lwaki abantu bange banobanvaako ne bagendera ddala?6Nawuliriza n’obwegenderezanaye tebayogera mazima;tewali muntu yenna yeenenya bibi byakoze n’okwebuuza nti,‘Kiki kino kye nkoze?’Buli muntu akwata kkubo lyeng’embalaasi efubutuka ng’etwalibwa mu lutalo.7Ebinyonyi ebibuukira mu bbangabimanyi ebiseera mwe bitambulira;ne kaamukuukulu n’akataayi ne ssekanyolyabimanyi ebiseera mwe bikomerawo,naye abantu bangetebamanyi biragiro bya Mukama.”
8Muyinza mutya okwogera nti,“Tuli bagezi nnyo, n’amateeka ga Mukama tugalina,ate nga ekkalaamu y’abawandiisi ey’obulimbayeebikyusizza.9Abagezigezi baliswala ne bakeŋŋentererwaera balitwalibwa.Bagaanyi ekigambo kya Mukama,magezi ki ge balina?10Noolwekyo bakazi baabwendibagabira abasajja abalalan’ennimiro zaabwezitwalibwe abantu abalala.Bonna ba mululu okuva ku asembayo wansi okutuuka ku akomererayo waggulu,nnabbi ne kabona bonna balimba ne babba abantu.11Ebiwundu by’abantu bange babijjanjaba nga tebafaayo,babikomya kungulu nga boogera nti,Mirembe, Mirembe, ate nga teri mirembe.12Baakwatibwa ensonyi bwe baakola ebivve?Nedda tebakwatibwa nsonyi wadde,so tebamanyi wadde okulimbalimba.Noolwekyo baligwira mu bagudde,balikka lwe balibonerezebwa,”bw’ayogera Mukama.
13“Ndimalirawo ddala amakungula gaabwe,”bw’ayogera Mukama.Tewaliba zabbibu,na mutiini,n’ebikoola byabwe biriwotoka.Bye mbawaddebiribaggyibwako.
14Kiki ekitutuuzizza wano obutuuza?Mukuŋŋaane.Tuddukire mu bibuga ebiriko bbugwetuzikiririre eyo.Mukama Katonda atuwaddeyo tuzikirireera atuwadde amazzi agalimu obutwa tuganywe,kubanga twonoonye mu maaso ge.15Twasuubira mirembenaye tewali bulungi bwajja;twasuubira ekiseera eky’okuwonyezebwanaye waaliwo ntiisa.16Okukaaba kw’embalaasi z’omulabe kuwulirwa mu Ddaani;ensi yonna yakankana olw’okukaaba kw’embalaasi.Bajja okuzikirizaensi ne byonna ebigirimu,ekibuga ne bonna abakibeeramu.
17“Laba, ndikusindikira emisota egy’obusagwa,amasalambwa g’otasobola kufuga,emisota egyo girikuluma,”bwayogera Mukama.
18Nnina ennaku etewonyezeka,omutima gwange gwennyise.19Wuliriza okukaaba kw’abantu bangeokuva mu nsi ey’ewala.“Mukama taliimu mu Sayuuni?Kabaka we takyalimu?”“Lwaki bansunguwaza n’ebifaananyi byabwe,bakatonda abalala abatagasa?”
20“Amakungula gayise,n’ekyeya kiyise,tetulokolebbwa.”
21Nnumiziddwa olw’okulumizibwa kwa muwala wange.Nkaaba ne nzijula ennaku.22Teri ddagala mu Gireyaadi?Teriiyo musawo?Lwaki ekiwundu ky’abantu bangetekiwonyezebwa?