Yeremiya47lug_bib

Obubaka Obukwata ku Bafirisuuti

1Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku Bafirisuuti nga Falaawo tannalumba Gaza nga kigamba nti:
2Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,“Laba amazzi agatumbira mu bukiikakkono,galifuuka omugga ogwanjaala.Galyanjaala ku nsine mu bibuga byonna ebigirimu n’ababituulamu.Abantu balikaaba;bonna abali mu nsi baliwowoggana.3Olw’emisinde gy’embalaasi eziddukan’okufuumuuka kw’amagaali g’omulabeera n’okuwuuma kwa nnamuziga,bakitaabwe tebajja kukyuka kuyamba baana baabwe,emikono gyabwe gya kulebera.4Kubanga olunaku lutuuseokuzikiriza Abafirisuuti bonna,n’okusalako bonna abandisigaddewoabandiyambye Ttuulo ne Sidoni.Mukama wa kuzikiriza Abafirisuutiabaasigalawo ku mbalama z’ekizinga Kafutoli.5Gaza alimwa omutwe gwe ng’akungubaga.Asukulooni alisirisibwa.Ggwe eyasigala mu kiwonvu,olituusa ddi okwesalaasala?
6“ ‘Ayi ggwe ekitala kya Mukama Katonda, okaaba,obudde bunaatuuka ddi owummule?Ddayo mu kiraato kyosirika teweenyeenya.’7Naye kiyinza kitya okuwummulanga Mukama y’akiragidde,ng’akiragiddeokulumba Asukulooni n’olubalama lw’ennyanja?”