Yeremiya30lug_bib

Isirayiri Azzibwawo

1Kino kye kigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya nti,2“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, ‘Wandiika ku muzingo ebigambo byonna bye njogedde naawe.3Ennaku zijja, lwe ndikomyawo abantu bange Isirayiri ne Yuda okuva mu busibe, mbazzeeyo mu nsi gye nawa bajjajjaabwe babeere omwo,’ bw’ayogera Mukama.”4Bino bye bigambo Mukama bye yayogera ebikwata ku Isirayiri ne Yuda nti,5“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,“ ‘Emiranga egy’okutya giwulirwa,bulabe teri mirembe.6Mubuuze mulabe.Omusajja alumwa okuzaala?Kale lwaki ndaba buli musajja ow’amaanying’atadde emikono gye ku lubuto ng’omukazi alumwa okuzaala,buli muntu mu maaso yenna asiiwuuse ng’agenda okufa?7Nga luliba lwa nnaku olunaku olwo!Tewali lulirufaanana.Kiriba kiseera kya kabi eri Yakobo,naye aliwona n’akiyitamu.
8“ ‘Olulituuka ku lunaku olwo,ndimenya ekikoligo okuva mu nsingo zaabweera ne mbasaleko amasamba,ab’amawanga nga tebakyaddayo kubafuula baddu,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.9Wabula, bajja kuweerezanga Mukama Katonda waabwene Dawudi kabaka waabwegwe ndibayimusiza.
10“ ‘Noolwekyo totya, ggwe Yakobo omuweereza wange,toggwaamu maanyi ggwe Isirayiri,’bw’ayogera Mukama.‘Ddala ddala ndibalokola okubaggya mu kifo eky’ewala,nziggye ezzadde lyammwe okuva mu nsi ey’obuwaŋŋanguse.Yakobo aliddamu okuba n’emirembe n’obutebenkevu,era tewali n’omu alimutiisatiisa.11Ndi wamu nammweera ndibalokola,wadde nga ndizikiririza ddala amawanga gye mbagobedde,siribazikiririza ddala mmwe,’bw’ayogera Mukama.Ndibakangavvula n’obwenkanya,siribaleka nga temubonerezebbwa n’akatono.12“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,“ ‘Ekiwundu kyo tekiwonyezeka,Ebisago byo si byakuwona.13Tewali n’omu wa kukuwolereza,tewali ddagala lya kiwundu kyo, toowonyezebwe.14Abakuyamba bonna bakwerabiddetebakufaako.Nkukubye ng’omulabe bwe yandikozene nkubonereza ng’owettima bwe yandikoze,kubanga omusango gw’ozzizza munene nnyon’ebibi byo bingi ddala.15Lwaki okaaba olw’ekiwundu kyo,obulumi bwo obutaliiko ddagala?Olw’okwonoona kwo okunene n’ebibi byo ebingi ennyonkuleeseeko ebintu bino.
16“ ‘Naye bonna abakumira nabo baliriibwa,abalabe bo bonna baligenda mu buwaŋŋanguse.Abo abaakunyaga balinyagibwa,abo abaakwelula balyelulwa.17Naye ndikuzzaawo owone,ndiwonya ebiwundu byo,’ bw’ayogera Mukama,‘kubanga oyitibwa eyasuulibwa,Sayuuni atalina n’omu amufaako.’18“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,“ ‘Ndizzaawo eby’obugagga by’eweema za Yakoboera mbeere n’ekisa ku kifo kyammwe kye mwabeerangamu.Ekibuga kirizimbibwa awaali amatongo gaakyo,n’olubiri luzzibwe mu kifo kyalwo ekituufu.19Mu bo mulivaamu ennyimba ez’okwebazaera n’eddoboozi ery’okujaguza,ndibaaza, era tebaliba batono,ndibawa ekitiibwa, tebalinyoomebwa.20Abaana baabwe baliba nga bwe baali mu nnaku ez’edda,era n’ebitundu byabwe mwe baabeeranga bizimbibwe nga ndaba.Ndibonereza bonna ababanyigiriza.21Omukulembeze waabwe aliba omu ku bo;omukulembeze waabwe aliyimuka okuva mu bo.Ndimuleeta wendi era musembeze kumpi nange,kubanga ani oyo alyewaayookunyiikira okubeera okumpi nange?’bw’ayogera Mukama.22‘Noolwekyo munaabeeranga bantu bange,nange n’abeeranga Katonda wammwe.’ ”
23Laba, omuyaga gwa Mukamagulikuntira mu kiruyi,empewo ey’amaanyieyeetooloolera ku mitwe gy’abakozi b’ebibi.24Obusungu bwa Mukama obubuubuukatebujja kukoma okutuusa ng’atuukirizzaekigendererwa ky’omutima gwe.Mu nnaku ezirijja,kino mulikitegeera.