Yeremiya14lug_bib

Ekyeya, Enjala, n’Ekitala

1Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yerusaalemi ekikwata ku kyeya.2“Yuda ekungubaga n’ebibuga byayo bifaafaaganye,bakaabira ensi,era omulangagusimbuse mu Yerusaalemi.3Abakungu batuma abaddu baabwe okuleeta amazzi;bagenda mu ttanka ez’omu ttaka nga temuli kantu,bakomawo n’ebintu ebikalu;ensonyi nga zibakutten’essuubi nga libaweddemu;babikka amaaso gaabwe.4Ettaka lyatisekubanga enkuba tekyatonnya,abalimi baweddemu amaanyi,babikka ku mitwe gyabwe.5N’empeewo ku ttale ezaalan’ereka awo omwana gwayokubanga tewali muddo.6N’ennyumbu ez’omu nsiko ziyimirira ku busozi obukalunga ziwejjawejja ng’ebibe,amaaso gaazo nga tegalaba bulungikubanga tezirina kye zirya.”
7Wadde obutali butuukirivu bwaffe butulumiriza, Ayi Mukama,baako ky’okola olw’erinnya lyo.Kubanga tuzze ennyuma emirundi mingi,tukwonoonye nnyo.8Ayi ggwe essuubi lya Isirayiri,Omulokozi waalyo mu biseera eby’okulabiramu ennaku,lwaki oli ng’omuyise mu nsi,ng’omutambuze asula ekiro ekimu?9Lwaki oli ng’omuntu gwe baguddeko obugwi,ng’omulwanyi ataliimu maanyi ganunula?Ggwe, Ayi Mukama Katonda, oli wakati mu ffe,era tuyitibwa linnya lyo.Totuleka.10Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ku bantu be nti,“Baagala nnyo okubula,tebaziyiza bigere byabwe.Noolwekyo Mukama tabakkirizaera kaakano wakujjukira obutali butuukirivu bwabweera ababonereze olw’ebibi byabwe.”11Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Tosabira bantu bano kubeera bulungi.12Newaakubadde nga basiiba, sijja kuwulira kukaaba kwabwe, era wadde bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo eby’empeke, sijja kubikkiriza. Naye nnaabazikiriza n’ekitala, n’enjala ne kawumpuli.”13Naye ne njogera nti, “Woowe, Mukama Katonda, bannabbi abalala babagamba nti, ‘Tewajja kubaawo lutalo wadde okulumwa enjala. Naye nzija kuleeta mirembe egitakoma mu kifo kino.’ ”14Awo Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Bannabbi bawa obunnabbi obw’obulimba mu linnya lyange, sibatumanga wadde okubalagira okwogera nabo. Babategeeza okwolesebwa okw’obulimba n’obunnabbi obutaliimu, n’obutaliimu bw’emitima gyabwe.15Noolwekyo, bw’atyo bw’ayogera Mukama, ebikwata ku bannabbi abategeeza ebyobunnabbi mu linnya lyange wadde nga sibatumanga, era abagamba nti, ‘Ekitala n’enjala tebijja kujja mu nsi eno.’ Bannabbi abo bennyini bajja kuzikirizibwa ekitala n’enjala.16N’abantu be bategeezezza obunnabbi balifa enjala n’ekitala ne bakasukibwa mu nguudo babulweko abaziika, bo ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, n’abawala. Kubanga ndibayiwako obusungu obubasaanira.17“Kino ky’oba obagamba nti,“ ‘Leka amaaso gange gakulukute amazigaemisana n’ekiro awatali kukoma;kubanga muwala wange embeerera, abantu bange,bafunye ekiwundu ekinene,ekintu eky’amaanyi.18Bwe ŋŋenda mu byalondaba abafumitiddwa n’ekitala!Bwe ŋŋenda mu kibugandaba okutaagulwataagulwa okw’enjala.Naye nnabbi ne kabona beeyongera okukola emirimu gyabwe mu ggwangakyokka nga bye boogera bya bulimba.’ ”
19Yuda ogigaanidde ddala?Sayuuni ogyetamiriddwa ddala?Otufumitidde ddala awatali kuwonyezebwa?Twasuubira emirembe naye tewali kalungi ke tufunye,ekiseera eky’okuwonyezebwanaye laba tufunye bulabe bwereere.20Ayi Mukama tukkiriza ebibi byaffeera n’obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe,kubanga ddala twayonoona gy’oli.21Olw’erinnya lyo totugoba,tovumaganyisa ntebe yo ey’obwakabaka ey’ekitiibwa.Jjukira endagaano gye wakola naffe,togimenya, gituukirize.22Waliwo ku bakatonda ababajje bannaggwanga asobola okutonnyesa enkuba?Eggulu ku bw’alyo lisobola okuleeta enkuba?Nedda, wabula ggwe, Ayi Mukama Katonda waffe.Noolwekyo essuubi lyaffe liri mu ggwe,kubanga ggwe okola bino byonna.