Isaaya63lug_bib

Katonda lw’Aliwoolera Eggwanga n’Okununula Abantu be

1Ani ono ava mu Edomu mu kibuga Bozulaanekaanekanye mu ngoye emyufu.Ani ono ali mu ngoye za bakabakaakumba mu bukulu bw’ekitiibwa kye?“Ye nze alangirira obutuukirivu,ow’amaanyi okulokola.”
2Lwaki oyambadde ebyambalo ebimyufung’eby’omusogozi w’omu ssogolero lya wayini?
3“Nva kulinnyirira amawanga nga emizabbibu,tewali n’omu yajja kunnyambako.Nabalinnyiririra mu busunguera omusaayi gwabwene gusammukira ku ngoye zange,era guyiise ku byambalo byange.4Kubanga olunaku olw’okununula abantu bange lwali lutuuse,olunaku olw’okuwoolera eggwanga abalabe baabwe.5Natunula naye nga tewali n’omu ayinza kunnyamba,newuunya okulaba nga tewaali n’omu ayinza kunkwatirako.Kale omukono gwange ne gundeetera obuwanguzi,era obusungu bwange ne bunnyweza.6Mu busungu bwange nalinnyirira abantu,mu kiruyi kyange ne mbatamiiza,omusaayi gwabwe ne nguyiwa ku ttaka.”
7Ndibuulira ku bulungi bwa Mukama,ebikolwa ebyamugwanyisa okutenderezebwa,okusinziira ku byonna Mukama by’atukoledde;weewaawo ebirungi ebingi by’akoledde ennyumba ya Isirayiri,okusinziira ku kisa kye,okusinziira ku bungi bw’okwagala kwe okutajjulukuka.8Yagamba nti, “Ddala bantu bange,abaana aboobulenzi abatannimbelimbe,”era bw’atyo n’afuuka omulokozi waabwe.9Yabonaabonera wamu nabo mu kubonaabona kwabwe kwonna,era malayika ayimirira mu maaso ge n’abawonya.Mu kwagala kwe n’ekisa kye yabanunula;yabayimusan’abeetikka mu nnaku zonna ez’edda.10Naye baajeemane banyiiza Mwoyo Mutukuvu,kyeyava abakyukira n’afuuka omulabe waabweera ye kennyini n’abalwanyisa.
11Ne balyoka bajjukira ennaku ez’edda,ennaku ez’edda eza Musa n’abantu be;aluwa oyo eyabayisa mu nnyanja n’omulunzi w’ekisibo kye.Aluwa oyo eyateeka Mwoyo Mutukuvu wakati mu bo12eyatuma omukono gwe ogw’ekitiibwaogw’amaanyi okubeera ku mukono gwa Musa ogwa ddyo,eyayawulamu amazzi nga balaba,yeekolere erinnya ery’emirembe n’emirembe?13Ani eyabakulembera n’abayisa mu buziba?Ng’embalaasi mu nsi eyeetadde enjereere tebeesittala.14Ng’ente ezigenda mu nsi eyeetadde,Omwoyo wa Mukama yabawummuza.Bw’otyo bwe wakulembera abantu bookwekolera erinnya ery’ettendo.15Tunula wansi ng’oli waggulu mu ggulu olabe,ng’oli ku ntebe yo ey’ekitiibwa egulumidde entukuvu.Obunyiikivu bwo n’ebikolwa byo eby’amaanyi biri ludda wa?Obulungi bwo n’ekisa bitukwekeddwa.16Ggwe Kitaffe,wadde nga Ibulayimu tatumanyiera nga Isirayiri tatutegeera,Ayi Mukama Katonda, ggwe Kitaffe Omununuzi waffeokuva edda n’edda lye linnya lyo.17Ayi Mukama Katonda, lwaki otuleka ne tuva ku makubo go,n’okakanyaza omutima gwaffe, ne tutakutya?Komawo olw’obulungi bw’abaddu boamawanga g’omugabo gwo.18Abantu bo abatukuvu baali mu kifo kyo ekitukuvu akaseera katono,naye kaakano abalabe baffe bakirinnyiridde.19Ffe tuli bantu bo okuva edda n’edda;naye bo tobafuganga,tebayitibwanga linnya lyo.