Isaaya62lug_bib

Erinnya lya Sayuuni Eriggya

1Ku lwa Sayuuni ssiisirike,era ku lwa Yerusaalemi ssiiwummule,okutuusa nga obutuukirivu bwe butemagana ng’emmambya esala,obulokozi bwe ng’ettaala eyaka.2Amawanga galiraba obutuukirivu bwo,era ne bakabaka bonna baliraba ekitiibwa kyo.Oliyitibwa erinnya epyaakamwa ka Mukama lye kalikuwa.3Olibeera ngule etemagana mu mikono gya Mukama,enkuufiira y’obwakabaka mu mukono gwa Katonda wo.4Ataliddayo kuyitibwa nti, Eyalekebwa,ensi yo teriddamu kuyitibwa nti, Yazika.Naye oliyitibwa nti, Gwe nsanyukira,n’ensi yo eyitibwe nti, Eyafumbirwa.Kubanga Mukama akusanyukiraera ensi yo eribeera ng’omukazi afumbiddwa.5Kubanga ng’omuvubuka bwawasa omuwala omutobw’atyo eyakutonda bwalikulabirira.Nga omugole omusajja bwasanyukira oyo gw’awasizza,bw’atyo Katonda bwalikusanyukira.
6Ntadde abakuumi ku bbugwe wo,ggwe Yerusaalemi abataasirike emisana n’ekiro.Mmwe abakoowoola Mukamatemuwummula.7Era temumuganya kuwummula okutuusa nga azimbye Yerusaalemiera ng’agifudde ettendo mu nsi.
8Mukama yalayira n’omukono gwe ogwa ddyoera n’omukono gwe ogw’amaanyi:“Siriddayo nate kuwaayo ŋŋaano yo kubeera mmere y’abalabe bo,era bannaggwanga tebaddeyo kunywa nvinnyo yo gy’otawaanidde.9Naye abo abagikungula be baligiryane batendereza Mukama,n’abo abanoga emizabbibube baliginywera mu mpya z’omu watukuvu wange.”
10Muyiteemu, muyite mu miryango mugende!Muzimbe oluguudo,mulugyemu amayinja.Muyimusize amawanga ebbendera.
11Laba Mukama alangiriddeeyo yonna ensi gy’ekoma,nti, “Gamba omuwala wa Sayuuni nti,‘Laba omulokozi wo ajja,Laba aleeta n’ebirabo bingi,n’abantu b’anunudde bamukulembedde.’ ”12Era baliyitibwa Abantu Abatukuvu,Abanunule ba Mukama,ne Yerusaalemi kiyitibwe, Ekibuga Mukama ky’ayagala,Ekibuga Ekitakyali ttayo.