Isaaya58lug_bib

Okusiiba okw’Amazima

1Kyogere mu ddoboozi ery’omwanguka,tokisirikira.Yimusa eddoboozi lyo ng’ekkondeere,obuulire abantu bange okusobya kwabwe, n’ennyumba ya Yakobo ebibi byabwe.2Kubanga bannoonya buli lunakuera beegomba okumanya amakubo gange,nga bali ng’abantu abakola eby’obutuukirivuso si abaaleka edda ebiragiro bya Katonda waabwe.Bambuuza ensala ennuŋŋamu,ne basanyukira Katonda okusembera gye bali.3Beebuuza nti, “Lwaki twasiiba, naye ggwe n’otokifaako?Lwaki twetoowaza naye ggwe n’otokissaako mwoyo?”Musooke mulabe,ennaku ze musiibamuba munoonya ssanyu lyammwe ku bwammwe,musigala munyigiriza abakozi bammwe.4Njagala mulabe.Kalungi ki akali mu kusiiba ng’ate mugenda kudda mu nnyombo,n’okukaayana n’okukuba bannammwe agakonde.Temuyinza kusiiba nga bwe mukola kaakano eddoboozi lyammwe ne liwulirwa mu ggulu.5Okusiiba kwe nalonda bwe kutyo bwe kufaanana?Olunaku omuntu lw’eyetoowalizaako?Kukutamya bukutamya mutwe,kuguweta nga lumuli n’okugalamira mu bibukutu mu vvu?Okwo kwe muyita okusiiba,olunaku olusiimibwa Mukama?
6Kuno kwe kusiiba kwe nalonda;okusumulula enjegere ezinyigiriza abantu,n’okuggyawo emiguwa gy’ekikoligo,n’okuta abo abanyigirizibwa,n’okumenya buli kikoligo?7Si kugabira bayala ku mmere yo,n’okusembeza abaavu abatalina maka mu nnyumba yo;bw’olaba ali obwereere, n’omwambazan’otekweka baŋŋanda zo abeetaaga obuyambi bwo?8Awo omusana gwo gulyoke guveeyogwake ng’emmambya esala, era okuwonyezebwa kwo kujje mangu;obutuukirivu bwo bukukulembere,era ekitiibwa kya Katonda kikuveeko emabega.9Olwo olikoowoola, Mukama n’akuddamu;olikaaba naye n’akuddamu nti, Ndi wano.“Bwe muliggyawo ekikoligo ekinyigirizan’okusonga ennwe, n’okwogera n’ejjoogo;10bw’olyewaayo okuyamba abayalan’odduukirira abali mu buzibu,olwo omusana gwo gulyaka n’ova mu kizikiza,ekibadde ekiro kifuuke ettuntu.11Era Mukama anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna,n’akuwa ebintu ebirungi obulamu bwo bye bwetaaga,amagumba go aligongeramu amaanyi;era olibeera ng’ennimiro enfukirire obulungi,era ng’oluzzi olw’amazzi agatakalira.12N’abantu bo balizimba ebifo eby’edda ebyazikaera baddemu okuzimba emisingi egy’edda.Olyoke oyitibwe omuddaabiriza wa bbugwe eyamenyeka,omuddaabiriza wa mayumba ag’okusulamu.
13“Bw’oneekuumanga obutayonoona Ssabbiiti,obutakola nga bw’oyagala ku lunaku lwange olutukuvu,bw’onooluyitanga olw’essanyuera olunaku lwa Mukama olw’ekitiibwa,singa muluwa ekitiibwa ne mutakwata makubo gammweoba obutakola nga bwe mwagala oba okwogera ebigambo eby’okubalaata,14awo olifuna essanyu eriva eri Mukamaera olitambulira mu bifo by’ensi ebya wagguluera ndikuwa obusika bwa kitaawo Yakobo”Akamwa ka Mukama ke kakyogedde.