Isaaya57lug_bib
1Abantu abatuukirivu bazikirira,naye tewali akirowoozako n’akatono.Abantu abeewaddeyo eri Katondabatwalibwa nga tewali n’afuddeyo kukirowoozaako.Kubanga omutuukirivu aggyibwawoolw’akabi akagenda okujja.2Ayingira mu miremben’afuna okuwummulira mu kufa kwe,ne bawummula ga beebase, abo abatambulira mu bugolokofu.3“Naye mmwe mujje musembere wano batabani b’omukazi omufumuezzadde ly’omwenzi omukazi eyeetunda.4Muzannyira ku ani?Ani gwe mukongoolane mumusoomooza?Temuli baana ba bujeemu,ezzadde eryobulimba?5Mwaka ne mwegombera wansi w’emitina buli wansi wa buli muti oguyimiridde;mmwe abasaddaaka abaana bammwe mu biwonvune wansi w’enjatika z’enjazi.6Bakatonda bo ge mayinja amaweweevu gosinziza mu biwonvu,abo be babo, obusika bwo;abo b’ofukira ekiweebwayo ekyokunywaera n’ebiweebwayo eby’empeke.Nga weemalidde mu kukola bino byonna, olowooza nnyinza okusanyuka?7Mwambuka ku ntikko z’ensozi okwendanga mugenze okuwaayo ssaddaaka.8Emabega w’enzigi zammwewe muteeka ebibumbe eby’obuwemu bye musinza.Mwandeka ne mukola eby’obuwemumu bitanda byammwe ebigazi.Eyo gye mweyambulira ne mukola endagaanon’abo be mwagala be muleeta mu bitanda byammwe.9Ne weekuba kalifuuwa omuyitirivung’ogenda okutwala amafuta ag’omuzeeyituuni ewa Moleki katonda wo,n’otuma ababaka bo ewala ennyo banoonye bakatonda,kumpi batuuke n’emagombe.10Amakubo go gonna gakuteganya ne gakukooya nnyonaye teweegamba nako nti,‘Nteganira ki atalina kyeŋŋanyurwa?’Singa tewanoonya bikuzaamu maanyi, wandizirise.11“B’ani abo be watya n’otekemuka n’obawuliriza,n’olyoka olimba,nze n’otonzijukira n’akatonowadde okundowoozaako?Olw’okubanga nsirise n’esikunyegaky’ekikuyinudde n’onneerabira n’ompisaamu amaaso.12Nnaayolesa obutuukirivu bwo ne by’okola,naye tebigenda kukugasa.13Bw’okaabanga nga weetaaga obuyambi,leka bakatonda bo be wakuŋŋaanya bakununule;naye empewo eribatwala,omukka obukka abantu gwe bassa gulibaggirawo ddala bonna.Naye oyo anfuula ekiddukiro kyealirya ensiera alitwala olusozi lwange olutukuvu.”