Isaaya56lug_bib

Abantu ba Katonda Baliva mu Mawanga Gonna

1Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,“Mukolenga obwenkanya era ebituufu,kubanga obulokozi bwange bunaatera okujja,n’obutuukirivu bwangebunatera okubikkulibwa.2Alina omukisa omuntu akola ekyo,n’omwana w’omuntu akinyweererako.Akwata ssabbiiti obutagyonoona,n’akuuma omukono gwe obutakola kibi na kimu.”
3Era ne munnaggwanga eyeegatta ku Mukama tayogeranga nti,“Mukama, oboolyawo alinjawula ku bantu be,”so n’omulaawe okugamba nti,“Ndi muti mukalu.”4Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,“Eri abalaawe abakwata ssabbiiti zangene basalawo okugoberera ebyo ebinsanyusa,ne bakuuma endagaano yange,5amannya gaabwe galijjukirwamu yeekaalu yange mu bisenge byamu, ng’ekijjukizon’okusinga bwe mwandibadde n’abaana aboobulenzi n’aboobuwala.Ndibawa erinnya eritaliggwaawoery’emirembe n’emirembe.6N’abo bannaggwanga abasalawo okwegatta ku Mukama,okumuweereza era n’okwagala erinnya lya Mukamaera n’okubeera abaweereza be,abakwata ssabbiitine batagyonoonaera ne banyweza endagaano yange,7bano ndibaleeta ku lusozi lwange olutukuvuera ne mbawa essanyu mu nnyumba yange ey’okusabiramu.Ebiweebwayo byabwe ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwebirikkirizibwa ku kyoto kyange.Kubanga ennyumba yange eriyitibwa nnyumba ya kusabiramueri amawanga gonna.”8Bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna,akuŋŋaanya Abayisirayiri abaawaŋŋangusibwa nti,“Ndikuŋŋaanyaayo abantu abalalang’oggyeko abantu bange aba Isirayiri be nkuŋŋaanyizza.”

Katonda Alumiriza Abakulembeze ba Isirayiri Ebibi byabwe

9Mukama agamba amawanga amalala okujjang’ensolo ez’omu nsiko, galye abantu be.10Kubanga abakulembeze ba Isirayiri bazibe ba maaso,bonna tebalina magezi,bonna mbwaezitasobola kuboggola,zibeera mu kuloota nakugalaamiriraezaagala okwebaka obwebasi.11Embwa ezirina omululu omuyitirivuezitakkuta.Basumba abatayinza kutegeera,bonna abakyamye mu makubo gaabwe;buli muntu ng’afa ku kwenoonyeza ky’anaalya.12Bagambagana nti,“Mujje, leka tukime omwenge tunywe tutamiire.N’olw’enkya lunaku ng’olwa leero,oba n’okusingawo.”