Isaaya11lug_bib

Ettabi Eririva ku Yese

1Ensibuka erimera ng’eva ku kikonge kya Yese,ne ku mirandira kulivaako omuti, ne ku muti kulivaako Ettabi eriribala ekibala.2Mwoyo wa Mukama alibeera ku ye,Mwoyo ow’amagezi n’okutegeerane Mwoyo w’okusala ensonga, n’ow’amaanyine Mwoyo w’okumanya era n’okutya Mukama Katonda.3Era n’essanyu lye liribeera mu kutya Mukama Katonda.Taasalenga misango ng’asinziira ku maaso ge gokka nga bwe galaba,oba okusalawo ng’asinziira ku byawulira n’amatu ge byokka,4naye anaasaliranga abaavu emisango mu bwenkanya,era asalire mu bwenkanya abo abawombeefu ab’omu nsi;era alikuba ensi n’omuggo ogw’omu kamwa ke,era alitta omukozi w’ebibi n’omukka ogw’omu kamwa ke.5Obutuukirivu, bwe buliba olukoba lwe yeesibya,n’obwesigwa, bw’alyesiba mu kiwato kye.
6Omusege gulisulanga wamu n’omwana gw’endiga,n’engo egalamire wamu n’omwana gw’embuzi;era ennyana n’empologoma n’ennyana eya ssava binaagalamiranga wamu;era omwana omuto yalizirabirira.7Ente n’eddubu biririira wamu,abaana baazo banaagalamiranga wamu.Empologoma erirya omuddo ng’ente.8N’omwana ayonka alizannyira ku kinnya ky’enswera,n’omwana omuto aliteeka omukono gwe mu kinnya ky’essalambwa.9Tewalibeera kukolaganako bulabewadde okuttiŋŋana ku lusozi lwange olutukuvu.Kubanga ensi eribeera ejjudde okumanya Mukama Katonda,ng’amazzi bwe gajjuza ennyanja.10Awo ku lunaku luli, muzzukulu wa Yese aliyimirira ng’ebendera eri amawanga. Oyo amawanga gwe ganaanoonyanga, n’ekifo kye eky’okuwummuliramu, kiribeera kya kitiibwa.11Era ku lunaku olwo Mukama aligolola omukono gwe omulundi ogwokubiriokununula abasigalawo ku bantu be, okubaggya mu Bwasuli ne mu Misiri ne mu Pasuloosi ne mu Kuusi ne mu Eramu ne mu Sinaali ne mu Kamasi ne mu bizinga eby’omu nnyanja.12Era aliwanikira amawanga bbendera, akuŋŋaanye abawaŋŋanguse ba Isirayiri;aleete wamu abantu ba Yuda abaali basaasaanye mu nsonda ennya ez’ensi.13Olwo obuggya bwa Efulayimu bulyoke buggweewo,n’abo abateganya Yuda balizikirizibwa.Efulayimu talikwatirwa Yuda buggyawadde Yuda okubeera omulabe wa Efulayimu.14Bombi awamu balirumba ne bamalawo Abafirisuuti mu busozi bw’ebugwanjuba;era bombiriri balinyaga abantu b’omu buvanjuba.Baligolola omukono gwabwe ku Edomu ne Mowaabu;n’abaana ba Amoni balibagondera.15Era Mukama Katonda alikalizaomukutu gw’ennyanja y’Abamisiri;era aliwujira omukono gwe ku mugga Fulaatine guleetawo omuyaga ogukaza,agwawulemu ebitundu musanvuabantu bye banaasomokanga ku bigere.16Era abo abalisigalawo ku bantu be balibeera n’ekkubo ery’okuyitamu ery’eggwangaeryasigala ku Bwasulinga bwe kyali eri Isirayiri ku lunakulwe baaviirako mu Misiri.