Isaaya1lug_bib

1Okwolesebwa kwa Isaaya, mutabani wa Amozi, kwe yafuna okukwata ku Yuda ne Yerusaalemi mu bufuzi bwa Uzziya, ne Yosamu, ne Akazi ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda.

Eggwanga Ejjeemu

2Wulira ggwe eggulu, mpuliriza ggwe ensi,kubanga bw’ati Mukama bw’ayogera nti,“Nayonsa ne ndera abaananaye ne banjeemera.3Ente emanya nannyini yon’endogoyi emanya ekisibo kya mukama waayo,naye Isirayiri tammanyi,abantu bange tebantegeera.”
4Woowe! Eggwanga erijjudde ebibi,abantu abajjudde obutali butuukirivu,ezzadde eryabakola ebibi,abaana aboonoonyi!Balese Mukamabanyoomye Omutukuvu wa Isirayiri,basenguse bamuvuddeko bamukubye amabega.
5Lwaki mweyongera okujeema?Mwagala mwongere okubonerezebwa?Omutwe gwonna mulwadde,n’omutima gwonna gunafuye.6Okuva mu mala g’ekigere okutuuka ku mutwetemuli bulamuwabula ebiwundu, n’okuzimba,n’amabwa agatiiriika amasiraagatanyigibwanga, okusibibwa,wadde okuteekebwako eddagala.
7Ensi yammwe esigadde matongo,ebibuga byammwe byokeddwa omuliro,nga nammwe bennyini mulaba.Bannamawanga balidde ensi yammwe,era ezise kubanga bannaggwanga bagisudde.8Omuwala wa Sayuuni alekeddwang’ensiisira esigadde mu nnimiro y’emizabbibu,ng’ekiwummulirwamu mu nnimiro y’emyungu ,ng’ekibuga ekizingiziddwa.9Singa Mukama ow’Eggyeteyatulekerawo bantu abatonotono abaasigalawotwandibadde nga Sodomu,twandifuuse nga Ggomola.
10Muwulirize ekigambo kya Katondammwe abafuzi ba Sodomu!Musseeyo omwoyo eri okuyigiriza kwa Katonda waffemmwe abantu b’e Ggomola!11“Ssaddaaka enkumu ze munsalirazingasa ki?Nkooye endiga ennumeenjokye eziweebwayo,so sisanyukira musaayi gwa nte,newaakubadde ogw’abaana b’endiga, newaakubadde ogw’embuzi ennume,” bw’ayogera Mukama.12Bwe mujja mu maaso gange,ani aba abayisene mujja okulinnyirira empya zange?13Mulekeraawo okuleeta ssaddaaka zammwe ezitaliimu;obubaane bwammwe bwa muzizo gye ndi.Omwezi Ogubonese ne Ssabbiiti n’enkuŋŋaana zammwezijjudde obutali butuukirivu.14Emyezi gyammwe Egibonese n’embaga zammwe ez’ennaku entukuvu,emmeeme yange ebikyaye,binfuukidde omugugu,nkooye okubigumiikiriza.15Bwe munaayimusanga emikono gyammwe musabennaabakwekanga amaaso gange,era ne bwe munaasabanga ennyosiiwulirengakubanga emikono gyammwe gisaabaanye omusaayi.
16Munaabe, mwetukuzemuggirewo ddala ebikolwa byammwe ebibi gye ndi,mulekeraawo okukola ebibi.17Muyige okukola obulungi, musalenga emisango n’amazima,mudduukirirenga abajoogebwa,musalenga omusango gw’atalina kitaawe,muwolerezenga bannamwandu.
18“Mujje nno tukubaganye ebirowoozo,”bw’ayogera Mukama;“ebibi byammwe ne bwe biba ng’olugoye olumyufubinaafuuka byeru ng’omuzira,ne bwe binaaba bitwakaavu nga langi emyufu enkwafu,binaatukula ng’ebyoya by’endiga.19Bwe munaagondanga ne muwulira,munaalyanga ebirungi eby’ensi;20naye bwe munaagaananga ne mujeemangaekitala kinaabalyanga,”kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.
21Laba ekibuga ekyesigwabwe kifuuse ng’omwenzi!Oyo eyasalanga emisango mu bwenkanya!Obutuukirivu bwatuulanga mu ye,naye kaakano batemu bennyini nnyini!22Effeeza yo efuuse masengere,wayini wo afuuse wa lujjulungu.23Abafuzi bo bajeemu,mikwano gya babbi,bonna bawoomerwa enguzi,era banoonya kuweebwa birabo;tebayamba batalina ba kitaabwe,so n’ensonga za bannamwandu tebazifaako.24Noolwekyo kyava ayogera Mukama, Mukama ow’Eggye,ow’amaanyi owa Isirayiri nti,“Ndifuka obusungu ku balabe bange,era ne nesasuza abo abankyawa.25Era ndikukwatamu n’omukono gwange,ne nnoongoosereza ddala amasengere go gonnane nkuggyamu ebitali birungi byonna.26Era ndikomyawo abalamuzi bo ng’olubereberyen’abo abakuwa amagezi, nga bwe kyali okusooka.Olwo olyoke oyitibweekibuga eky’obutuukirivu,ekibuga ekyesigwa.”
27Sayuuni alinunulibwa lwa bwenkanya,n’abantu baamu abalyenenya mu butuukirivu.28Naye abeewaggula n’abakozi b’ebibi balizikirizibwa wamu,n’abo abava ku Mukama Katonda, balimalibwawo.
29“Kubanga mulikwatibwa ensonyi olw’emitimwe mwenyumiririzanga,n’olw’ennimiroze mweroboza.30Kubanga mulibeera ng’omuvule oguwotokaera ng’ennimiro etaliimu mazzi.31N’omusajja ow’amaanyi alifuuka ng’enfuuzi,n’omulimu gwe ng’akasasi akavudde ku lyanda,era byombi biriggiira wamuso tewaliba azikiza omuliro ogwo.”