Ezeekyeri3lug_bib
1Awo n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, lya ekiri mu maaso go, lya omuzingo gw’empapula guno; oluvannyuma ogende oyogere eri ennyumba ya Isirayiri.”2Ne njasama, n’ampa omuzingo gw’empapula ne ngulya.3N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, lya omuzingo gw’empapula gwe nkuwa, ojjuze olubuto lwo.” Ne ngulya, ne guwoomerera ng’omubisi gw’enjuki.4Oluvannyuma n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, kaakano laga eri ennyumba ya Isirayiri oyogere ebigambo byange gye bali.5Sikutuma eri eggwanga eririna enjogera etategeerekeka era abalina olulimi oluzibu, b’otayinza kutegeera mu njogera, naye eri ennyumba ya Isirayiri,6so si eri abantu abangi abalina enjogera etategeerekeka era abalina olulimi oluzibu, b’otayinza kutegeera bye bagamba. Mazima singa nakutuma gye bali, bandikuwulirizza.7Naye ennyumba ya Isirayiri si beetegefu kukuwuliriza kubanga si beetegefu kumpuliriza; era ennyumba ya Isirayiri yonna balina ekyenyi kikalubo n’emitima mikakanyavu.8Naye naawe ndikufuula omukalubo era omukakanyavu mu mutima nga bo.9Ndifuula ekyenyi kyo okuba ng’ejjinja erikaluba ennyo, erikaluba ng’ejjinja ery’embaalebaale. Tobatya so totiisibwatiisibwa, newaakubadde nga nnyumba njeemu.”10N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, wuliriza bulungi era okwate ebigambo byonna bye njogera naawe.11Genda kaakano eri abantu bo, mu buwaŋŋanguse, oyogere nabo. Bagambe nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda, obanga banaawulira, obanga tebaawulire.”12Awo Omwoyo n’ansitula, ne mpulira emabega wange eddoboozi ng’okuwuluguma okunene nga lyogera nti, “Ekitiibwa kya Mukama kyebazibwe mu kifo gy’abeera.”13Okuwuuma okw’ebiwaawaatiro by’ebiramu nga bikuubagana, n’okuwuuma kwa zinnamuziga ku mabbali gaabyo kwali ng’okuwuluguma okw’amaanyi.14Omwoyo n’ansitula n’antwala, ne ŋŋendera mu buyinike ne mu busungu, ng’omukono gwa Mukama ogw’amaanyi guli ku nze.15Ne ntuuka mu kifo ekimu awaali abawaŋŋanguse e Terabibu ku mugga Kebali, ne ntuula mu bo okumala ennaku musanvu, nga nsamaaliridde.