Amosi3lug_bib

Okulabula Abantu ba Isirayiri

1Muwulire ekigambo kino Mukama ky’aboogerako mmwe abaana ba Isirayiri, ennyumba yonna gye naggya mu Misiri.2“Mu bantu bonna abali ku nsi,mmwe mwekka be nalonda.Kyendiva mbabonerezaolw’ebibi byammwe byonna.”3Abantu ababiri bayinza okutambulira awamuwabula nga bakkiriziganyizza?4Empologoma ewulugumira mu kisakanga terina muyiggo?Empologoma ento ekaabira mu mpuku yaayonga teriiko ky’ekutte?5Akanyonyi kayinza okugwa mu mutegonga tewali kikasikirizza?Omutego gumasukanga teguliiko kye gukwasizza?6Akagombe kavugira mu kibugaabantu ne batatya?Akabenje kagwa mu kibuganga Mukama si y’akaleese?
7Naye ddala Mukama Katonda takola kintu kyonnanga tasoose kukibikkulirabaweereza be, bannabbi.
8Empologoma ewulugumye,ani ataatye?Mukama Katonda ayogeddeani ataawe bubaka bwe?
9Langirira eri ebigo by’e Asudodin’eri ebigo by’e Misiri nti,“Mujje mukuŋŋaanire ku nsozi z’e Samaliyamulabe akajagalalo akanene akali eyon’abantu be nga bwe bajoogebwa.”
10Mukama agamba nti, “Abantu abajjuzzaebigo byabwe n’ebintu ebinyage,tebamanyi kukola kituufu.”11Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,“Omulabe alirumba ensi,n’amenyaamenya ebigo byo eby’amaanyiera n’abinyagulula.”12Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,“Ng’omusumba bw’agezaako okutaasa endiga ye okuva mu kamwa k’empologoman’asikayo amagulu abiri obubiri n’ekitundu ky’okutu,bwe batyo Abayisirayiri bwe balinunulibwa,abo abatuula mu Samaliyaku nkomerero y’ebitanda byabwene ku bitanda byabwe mu Ddamasiko.13“Muwulirize kino era mulumirize enju ya Yakobo yonna,” bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.14“Ku lunaku lwe lumu lwe ndibonereza Isirayiri olw’ebibi bye,ndisaanyaawo ebyoto by’e Beseri,n’amayembe g’ekyoto galisalibwakone gagwa wansi.15Era ndisaanyaawo ennyumba ebeerwamu mu biseera eby’obutiti,awamu n’ennyumba ebeerwamu mu biseera ey’ebbugumu;era ndimenyaamenya n’ennyumba ezayolebwa n’amasanga,ne nsanyaawo n’embiri,”bw’ayogera Mukama.