Amosi1lug_bib

1Bino bye bigambo Amosi eyali omu ku balunzi b’endiga mu bitundu by’e Tekowa bye yabikkulirwa, musisi amale ajje nga wakayitawo emyaka ebiri, mu mirembe gya Uzziya kabaka wa Yuda, era nga gy’emirembe gya kabaka Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi nga y’afuga Isirayiri.
2Amosi yagamba nti,“Mukama awuluguma ng’asinziira mu Sayuuni,era eddoboozi lye liwulirwa nga libwatukira mu Yerusaalemi;omuddo mu malundiro gulikalan’entikko y’olusozi Kalumeeri erisigala njereere.”

Okulamulwa kwa Baliraanwa ba Isirayiri

3Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,“Olw’ebyonoono bya Ddamasiko ebisatu,weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.Kubanga baabonereza nnyo abantu b’e Gireyaadinga babasalaasala n’ebyuma.4Ndiweereza omuliro mu lubiri lwa kabaka Kazayeeriera njokye n’ebigo bya kabaka Benikadadi.5Era ndimenya enzigi z’ekibuga Ddamasikoera ndizikiriza kabaka ali mu Kiwonvu ky’e Aveni,oyo akwata omuggo ogw’obwakabaka mu Besiadeni.Abantu b’e Busuuli balitwalibwa mu buwaŋŋanguse mu Kiri,”bw’ayogera Mukama.6Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,“Olw’ebyonoono bya Gaza ebisatu,weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.Kubanga yatwala eggwanga ddamba mu busiben’alitunda eri Edomu.7Ndiweereza omuliro ku bbugwe wa Gazaogulyokya ebigo byakyo.8Ndizikiriza atuula mu Asudodi,n’oyo akwata omuggo gw’obwakabaka ndimumalawo okuva mu Asukulooni.Ndibonereza Ekuloniokutuusa lwe ndimalirawo ddala Abafirisuuti,”bw’ayogera Mukama.9Mukama bw’ati bw’ayogera nti,“Olw’ebyonoono bya Ttuulo ebisatu,weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.Kubanga yatunda eggwanga ddamba erya Edomu mu busiben’amenya endagaano ey’obwaseruganda eyali ekoleddwa,10kyenaava mpeereza omuliro ku bbugwe wa Ttuulo,ogunaayokya ebigo byakyo.”11Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,“Olw’ebyonoono bya Edomu ebisatu,weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.Kubanga yayigganya muganda we n’ekitalaawatali kusaasira,obusungu bwabwe ne bubuubuuka obutakomaera ne batabusalako.12Ndiweereza omuliro ku Temanioguliyokya ebigo bya Bozula.”13Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,“Olw’ebyonoono bya Amoni ebisatuweewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.Mu ntalo ez’okugaziya ensi ye,yabaaga abakazi abaali embuto ab’e Giriyaadi.14Ndiweereza omuliro ku bbugwe wa Labba,era gulyokya ebigo byakyo.Walibaawo n’oluyoogaano olunene ku lunaku olw’olutalomu mpewo ey’amaanyi, kibuyaga ng’akunta.15Kabaka waakyo alitwalibwa mu buwaŋŋanguse,ye n’abakungu be bonna,”bw’ayogera Mukama.