1Kale ebyo ebikwata ku kuyamba abantu ba Katonda, mmwe mukole nga bwe nagamba ab’Ekkanisa z’e Ggalatiya.2Buli omu ku mmwe ng’asinziira ku kufuna kwe mu wiiki, abengako ky’atereka, ebintu bireme kukuŋŋaanyizibwa nga nzize.3Kale bwe ndituuka ne mutuma abo be munaasiima ne mbawa ebbaluwa ne batwala ebirabo byammwe e Yerusaalemi.4Naye bwe kirirabika nga nange nsaanye ŋŋende, kale balimperekerako.
13Mutunulenga, munywerere mu kukkiriza, mubeere bazira era ab’amaanyi.14Buli kye mukola mukikolerenga mu kwagala.15Abooluganda, mumanyi nti mu Akaya ab’omu nnyumba ya Suteefana be baasooka okukkiriza Mukama waffe, era beewaayo okuyamba n’okuweereza abantu ba Katonda. Kale, abooluganda, mbasaba16muwulirenga abantu ng’abo, era na buli omu afube okukoleranga awamu nabo.17Suteefana ne Folutunaato ne Akayikobwe bajja gye ndi nasanyuka, kubanga baaliwo mu kifo kyammwe.18Era bansanyusa, era nga nammwe bwe baabasanyusa. Abantu ng’abo musaana mubalage nga bwe musiimye okuweereza kwabwe.19Ekkanisa ey’omu Asiya ebalamusizza. Akula ne Pulisikira awamu n’Ekkanisa ya Kristo eri mu maka gaabwe babalamusizza nnyo mu Mukama waffe.20Era abooluganda bonna babalamusizza. Mulamusagane mu n’okunywegera okutukuvu.21Nze, Pawulo, mbaweereza okulamusa kwange kuno, kwe mpandiika nze nzennyini n’omukono gwange.22Obanga waliwo atayagala Mukama, akolimirwe. Mukama waffe Yesu, jjangu!23Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.24Mwenna mbalamusizza n’okwagala mu Kristo Yesu. Amiina.