Zekkaliya10lug_bib

Mukama Alirabirira Yuda

1Musabe Mukama enkuba mu biseera byayo;kubanga Mukama y’akola ebireenkuba n’etonnya,olwo buli muntu n’afuna ebirime.2Kubanga bakatonda abalalan’abalaguzi balaba okwolesebwa okw’obulimba;ne baloota ebirooto eby’obulimba,ne bagumya abantu eby’obulimba.Abantu kyebava bazuŋŋana ng’endiga,nga banyigirizibwa olw’obutaba na musumba.3“Obusungu bwange bubuubuukidde ku basumbaera nzija kubonereza abakulembeze ba Yuda,kubanga Mukama ow’Eggye ajjakulabirira endiga ze, ennyumba ya Yuda,era alibafuula ng’embalaasi ye emwenyumiririzaamu ennyo mu lutalo.4Mu Yuda mulivaamu ejjinja ery’oku nsonda,muveemu n’enkondo enyweza weema,muveemu n’omutego ogw’akasaaleera muveemu na buli mufuzi yenna.5Bonna awamu balyoke babe ng’abasajja abazira ennyo mu lutaloabatambulira mu bitoomi by’omu nguudo mu biseera eby’entalo.Kubanga Mukama ali nabo,balirwana ne bawangula eggye eryebagadde embalaasi.
6“Ndiwa ennyumba ya Yuda amaanyiera ndiwonya ennyumba ya Yusufu,ndibakomyawokubanga mbakwatiddwa ekisa.Balibeeranga be sseegaanangakoera ndibawulirakubanga nze Mukama Katonda waabwe.7Olwo aba Efulayimu baliba ng’abasajja ab’amaanyi,emitima gyabwe ne gisanyuka nnyo ng’abanywedde wayini.Abaana baabwe balikiraba ne basanyuka,omutima gwabwe gulisanyukira mu Mukama.8Ddala ndibawonyane mbakuŋŋaanya.Ddala ndibanunula,baddeyo babeere bangi nga bwe baabanga.9Newaakubadde nga nabasaasaanyiza mu mawanga,naye balisinzira eyo mu nsi ezeewala ne banzijukira.Bo n’abaana baabwe baliba balamuera ne bakomawo gye ndi.10Ndibakomyawo okuva mu Misiri,mbakuŋŋaanye okuva mu Bwasuli.Ndibaleeta mu Gireyaadi ne Lebanoonine bajjula ensi ezo ne watasigalawo kabanga ka kubeeramu.11Baliyita mu nnyanja ey’okubonaabona;ennyanja ewuluguma erikkakkanyizibwa,n’obuziba bwa Kiyira bwonna bulikala.Amalala ga Bwasuli galibaggwaamun’omugo ogw’obufuzi bwa Misiri gulimenyebwa.12Ndibafuula ba maanyi mu Mukamaera nabo balitambulira mu linnya lyange,”bw’ayogera Mukama.