Oluyimba8lug_bib

1Singa wali muganda wange eyakuzibwa mmangeera eyayonka amabeere ga mmange,nandikusanze ebwerunandikunywegeddene wataba n’omu annyooma.2Nandikukulembeddene nkuleeta mu nnyumba ya mmange,oyo eyangigiriza.Nandikuwadde wayini okunywa ng’alimu ebyakaloosa,omubisi ogw’amakomamawanga gange.3Omukono gwe ogwa kkono guli wansi wa mutwe gwangen’omukono gwe ogwa ddyo gumpambaatira.4Mmwe abawala ba Yerusaalemi mbakuutira,temusiikuula newaakubadde okuzuukusa okwagalaokutuusa ng’ekiseera ekituufu kituuse.5Ani oyo gwe tulengera ng’ava mu ddungunga yeesigamye muganzi we?OmwagalwaNakuzuukusa ng’oli wansi w’omuti ogw’omucungwa.Eyo maama wo gye yafunira olubuto era eyomaama wo gye yakuzaalira mu bulumi obungi.6Nteeka ng’akabonero ku mutima gwo,era ng’akabonero ku mukono gwo,kubanga okwagala kwa maanyi ng’okufa,obuggya bwakwo buli ng’obusungu obw’emagombe.Kwaka ng’ennimi ez’omuliro,omuliro ogwaka n’amaanyi ennyo.7Amazzi amangi tegamalaawo nnyonta ya kwagalan’emigga tegiyinza kukumalawo.Singa omuntu awaayoobugagga bwe bwonna obw’ennyumba ye okufuna okwagala,asekererwa nnyo.8Tulina muto waffeatannamera mabeere,naye tulikola tutyabw’alituuka okwogerezebwa?9Singa abadde bbugwetwandimuzimbyeko eminaala egya ffeeza,singa abadde luggitwandimuggalidde na mivule.10Ndi bbugweera n’amabeere gange gali ng’ekitikkiro,noolwekyo mu maaso ge,mmufuukidde aleeta emirembe.11Sulemaani yalina ennimiro y’emizabbibu e Baaluka Kamooni,n’agisigira abalimi.Buli omu ku bo yamusaliraebitundu bya ffeeza lukumi.12Ennimiro yange ey’emizabbibu, yange,ebitundu olukumi bibyo ggwe Sulemaani,ebitundu ebikumi bibiri by’abo abalabirira ennimiro.13Ggwe abeera mu nnimirone mikwano gyo nga weebali,ka mpulire eddoboozi lyo.14Yanguwa okuvaayo eyo,odduke mangu ng’empeewooba ng’ennangaazi ento,oddukire ku nsozi ezijjudde ebyakaloosa.