Oluyimba6lug_bib
1Muganzi wo alaze wa,ggwe akira abakyala bonna obulungi?Muganzi wo yakutte lya watumukunoonyezeeko?2Muganzi wange aserengese mu nnimiro ye,mu misiri egy’ebirime ebyakaloosa,okulabirira ennimiro yen’okunoga amalanga.3Muganzi wange, wange, nange ndi wuwe;anoonyeza mu malanga.4Oli mubalagavu nga Tiruza,omwagalwa wange, omulungi nga Yerusaalemi,era ow’ekitiibwa ng’eggye eririna ebendera.5Tontunuulira nnyokubanga amaaso go gantawanya.Enviiri zo ziri ng’ekisibo eky’embuzi,eziserengeta okuva e Gireyaadi.6Amannyo go gali ng’ekisibo eky’endigaeziva okunaazibwa;buli emu nnongo eri n’ennongo ginnaayo,so tewali eri yokka.7Obwenyi bwo bw’obisse mu lugoye,buli ng’ebitundu by’amakomamawanga.8Ne bwe walibeerawo bakabaka abakazi nkaaga,n’abazaana kinaana,n’abawala embeerera abatamanyiddwa muwendo,9ejjiba lyange, owange ataliiko bbala, ow’enjawulo,mwana muwala eyazaalibwa yekka, ayagalibwa ennyo nnyinaokusinga abalala, y’ansingira mu bonna.Abawala baamulaba ne bamuyita wa mukisa;bakabaka abakazi n’abazaana baamutenda.10Ani ono alabika ng’emmambya,omulungi ng’omwezi, atangalijja ng’enjuba,alina ekitiibwa ng’eky’emunnyeenye?11Naserengeta mu nnimiro ey’emiti egy’ensigo okwetegerezaokumulisa okw’ebimera eby’omu kiwonvu,okulaba omuzabbibu obanga gwamulisa,n’okulaba emikomamawanga oba nga gyamera.12Bwe nnali nkyali awoemmeeme yange n’egenda eri amagaali ag’obwakabaka ag’omu bantu bange.13Komawo, Komawo, ggwe Omusulamu;komawo, komawo tukutunuleko.OwoomukwanoLwaki mutunuulira Omusulamung’abali ku mazina ga Makanayimu?