Oluyimba5lug_bib
1Nzize mu nnimiro yange mwannyinaze, omugole wange;nkuŋŋaanyiza mooli yange n’eby’akawoowo byange.Ndidde ebisenge byange eby’omubisi gw’enjuki gwange ne nywa n’omubisi gwange,Nywedde wayini wange n’amata gange.AbemikwanoAbemikwano mulye munywe, munywere ddala, mmwe abaagalana.2Nnali ngalamidde, ng’omutima gwange guwulira.Ne mpulira muganzi wange ng’akonkona, n’ayogera nti,“Nziguliraawo mwannyinaze, Owoomukwano, ejjiba lyange,owe wange ataliiko bbala,kubanga omutwe gwange gutobye omusulo,n’enviiri zange zibisiwadde olw’obunnyogovu.”3Nziggyeko ekkooti yange,nnaagyambala ntya nate?Nanaabye ebigere,nnaddayo ntya mu ttaka gye binaddugalira?4Muganzi wange bwe yakwata ku munyolo,omutima gwange ne gubuukabuuka.5Ne ngolokoka okuggulirawo muganzi wange,emikono gyange nga gitonnya mooli,n’engalo zange nga zikulukuta mooli,ku minyolo gy’ekufulu.6Ne ŋŋenda okuggulirawo muganzi wange,naye muganzi wange ng’avuddewo,yeetambulidde.Omutima gwange gwasanyuka bwe nnawulira eddoboozi lye.Ne munoonya naye n’ambula, ne mukoowoola naye nga taddamu.7Abakuumi baansangabwe baali nga balawuna mu kibuga;baankuba, ne bandeetako ebinuubule,ne batwala n’ekyambalo kyange,abasajja abo abakuuma bbugwe.8Mmwe abawala ba Yerusaalemi,mbakuutira nti bwe mulaba ku muganzi wange,mumutegeeze ng’okwagala kwangegy’ali bwe kunzita.9Owange, kiki muganzi wo ky’alinakyasinza abalungi abalala ggwe omukazi akira abalala obulungi?Kiki muganzi wo kyasinza abalalan’okutukuutira n’otukuutira bw’otyo?10Muganzi wange alabika bulungi nnyo era mumyufu,atabula ne mu bantu omutwalo.11Omutwe gwe gwa zaabu ennongoose ennyo;n’enviiri ze zirimu amayengo,era nzirugavu nga nnamuŋŋoona.12Amaaso ge gali ng’amayibaku mabbali g’emigga egy’amazzi,agaanaazibwa n’amata,ne gaba ng’amayinja ag’omuwendo omungi.13Amatama ge gali ng’emisiri egy’obuwoowo,obuleeta akaloosa akalungi.Emimwa gye giri ng’amalangaagakulukuta mooli.14Emikono gye giri ng’emitayimbwa egya zaabuegiteekebwamu amayinja ag’omuwendo.Omubiri gwe guli ng’amasangaamayooyote agatoneddwa ne safiro.15Amagulu ge gali ng’empagi ez’amayinja aganyiriraezisimbibwa mu zaabu ennungi.Mu ndabika afaanana Lebanooniomulungi ng’emivule gyayo.16Enjogera ye mpomerevu,weewaawo awamu n’ebyo byonna ayagalibwa.Ono ye muganzi wange, ye mukwano gwange;mmwe abawala ba Yerusaalemi.