Zabbuli99lug_bib

1Mukama afuga,amawanga gakankane;atuula wakati wa bakerubi,ensi ekankane.2Mukama mukulu mu Sayuuni;agulumizibwa mu mawanga gonna.3Amawanga gonna gatendereze erinnya lyo ekkulu era ery’entiisa.Mukama mutukuvu.
4Ye Kabaka ow’amaanyi, ayagala obwenkanya.Onywezezza obwenkanya;era by’okoledde Yakobo bya bwenkanyaera bituufu.5Mumugulumize Mukama Katonda waffe;mumusinzize wansi w’entebe y’ebigere bye.Mukama mutukuvu.
6Musa ne Alooni baali bamu ku bakabona be;ne Samwiri yali mu abo abaakoowoolanga erinnya lye;baasabanga Mukaman’abaanukula.7Yayogera nabo mu mpagi ey’ekire;baagondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye yabawa.
8Ayi Mukama Katonda waffe,wabaanukulanga;n’obeeranga Katonda asonyiwa eri Isirayiri,newaakubadde wababonerezanga olw’ebikolwa byabwe ebibi.9Mugulumizenga Mukama Katonda waffe,mumusinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu,kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.