Zabbuli97lug_bib
1Mukama afuga; ensi esanyuke,n’embalama eziri ewala zijaguze.2Ebire n’ekizikiza bimwetooloola;obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’entebe y’obwakabaka bwe.3Omuliro gumukulemberane gwokya abalabe be ku njuyi zonna.4Okumyansa kwe kumulisa ensi;ensi n’ekulaba n’ekankana.5Ensozi zisaanuuka ng’envumbo awali Mukama,mu maaso ga Mukama ow’ensi yonna.6Eggulu lirangirira obutuukirivu bwe;n’abantu bonna ne balaba ekitiibwa kye.7Abasinza ebifaananyi ebikole n’emikono bonna baswadde,abo abeenyumiririza mu bifaananyi ebyole.Mumusinze mwe mwenna bakatonda.8Sayuuni akiwulira n’asanyuka,n’ebyalo bya Yuda bijaguza;kubanga ogoberera eby’ensonga, Ayi Katonda.9Kubanga ggwe, Ayi Mukama, oli waggulu nnyo okusinga ensi;ogulumizibwa okusinga bakatonda bonna.10Abo abaagala Mukama bakyawa ekibi,akuuma obulamu bw’abamwesiga,n’abawonya okuva mu mukono gw’omukozi w’ebibi.11Omusana gwe gwakira abatuukirivu,n’abalina omutima ogw’amazima bajjula essanyu.12Musanyukirenga mu Mukama mmwe abatuukirivu,era mwebazenga erinnya lye ettukuvu.