Zabbuli96lug_bib

1Muyimbire Mukama oluyimba oluggya;muyimbire Mukama mmwe ensi yonna.2Muyimbire Mukama; mutendereze erinnya lye,mulangirire obulokozi bwe buli lukya.3Mutende ekitiibwa kye mu mawanga gonna,eby’amagero bye mubimanyise abantu bonna.
4Kubanga Mukama mukulu era asaanira nnyo okutenderezebwa;asaana okutiibwa okusinga bakatonda bonna.5Kubanga bakatonda bonna abakolebwa abantu bifaananyi bufaananyi;naye Mukama ye yakola eggulu.6Ekitiibwa n’obukulu bimwetooloola;amaanyi n’obulungi biri mu nnyumba ye entukuvu.
7Mugulumize Mukama mmwe ebika eby’amawanga byonna;mutende ekitiibwa kya Mukama awamu n’amaanyi ge.8Mugulumize Mukama mu ngeri esaanira erinnya lye;muleete ekiweebwayo mujje mu mbuga ze.9Musinze Mukama mu kitiibwa eky’obutuukirivu bwe.Ensi yonna esinze Mukama n’okukankana.10Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama y’afuga.Ensi nnywevu, tewali asobola kuginyeenyaako;Mukama aliramula abantu mu bwenkanya.
11Kale eggulu lisanyuke n’ensi ejaguze;ennyanja eyire ne byonna ebigirimu.12Ennimiro n’ebirime ebizirimu bijaguze;n’emiti gyonna egy’omu kibira nagyo gimutendereze n’ennyimba ez’essanyu.13Kubanga Mukama ajja;ajja okusalira ensi omusango.Mukama aliramula ensi mu butuukirivu,n’abantu bonna abalamule mu mazima.