Zabbuli95lug_bib
1Mujje tuyimbire Mukama;tuyimbire waggulu n’essanyu nga tutendereza Mukama Olwazi olw’obulokozi bwaffe.2Tujje mu maaso ge n’okwebaza;tumuyimbire ennyimba ez’okumutendereza.3Kubanga Mukama ye Katonda Omukulu;era Kabaka Omukulu asinga bakatonda bonna.4Enkonko ez’ensi ziri mu mukono gwe;n’entikko z’ensozi nazo zize.5Ennyanja yiye, kubanga ye yagikola;n’emikono gye, gye gyabumba olukalu.6Mujje tusinze tuvuuname mu maaso ge;tufukamire mu maaso ga Mukama, Omutonzi waffe.7Kubanga ye Katonda waffe,naffe tuli bantu ab’omu ddundiro lye,era tuli ndiga ze z’alabirira.Olwa leero bwe muwulira eddoboozi lye,8“Temukakanyaza mitima gyammwe nga bwe kyali e Meriba ,ne ku lunaku luli e Maasa mu ddungu;9bajjajjammwe gye bangezesa;newaakubadde baali baalaba dda ebyamagero bye nakola.10Abantu b’omulembe ogwo ne mbasunguwalira okumala emyaka amakumi ana;ne ŋŋamba nti, ‘Be bantu abakyama mu mutima gwabwe,era tebamanyi makubo gange.’11Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti,‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”