Zabbuli93lug_bib

1Mukama afuga; ayambadde ekitiibwa.Mukama ayambadde ekitiibwaera yeesibye amaanyi.Ensi yanywezebwa;teyinza kunyeenyezebwa.2Entebe yo ey’obwakabaka yanywezebwa okuva edda n’edda.Ggwe, Ayi Katonda, oli wa mirembe na mirembe.
3Amayengo gatumbidde, Ayi Mukama;ennyanja ziyimusizza amaloboozi gaazo,n’amazzi g’ennyanja gayira.4Mukama, Ali Waggulu Ennyo,oli wa maanyi okusinga okuyira kw’amazzi amangi;oli wa maanyi okusinga amayengo g’ennyanja.
5Ayi Mukama ebiragiro byo binywevu,n’obutukuvu bujjudde ennyumba yo,ennaku zonna.