Zabbuli91lug_bib
Obwesige bw’oyo atya Katonda.
1Oyo abeera mu kifo eky’ekyama eky’oyo Ali Waggulu Ennyo;aliwumulira mu kisiikirize kya Katonda Ayinzabyonna.2Nnaayogeranga ku Mukama nti, Oli kiddukiro kyange era ekigo kyange;ggwe Katonda wange gwe nneesiga.3Ddala ddala y’anaakuwonyanga omutego gw’omuyizzi,ne kawumpuli azikiriza.4Alikubikka n’ebyoya bye,era mu biwaawaatiro bye mw’onoddukiranga;obwesigwa bwe bunaabanga ngabo yo okukukuumanga.5Tootyenga ntiisa ya kiro,wadde akasaale akalasibwa emisana;6newaakubadde olumbe olusoobasooba mu kizikiza,wadde kawumpuli azikiriza mu ttuntu.7Abantu olukumi balifiira ku lusegere lwo,n’omutwalo ne bafiira ku mukono gwo ogwa ddyo,naye olumbe terulikutuukako.8Olitunuulira butunuulizi n’amaaso go;n’olaba ekibonerezo ky’omukozi w’ebibi.9Kubanga bw’olifuula Mukama ekiddukiro kyo;Ali Waggulu Ennyo n’omufuula ekifo kyo mw’obeera,10tewali kabi kalikutuukako,so tewali kibonoobono kirisemberera nnyumba yo.11Kubanga Mukama aliragira bamalayika bebakukuume mu makubo go gonna.12Balikuwanirira mu mikono gyabwe;oleme okwekoona ekigere kyo ku jjinja.13Olirinnya ku mpologoma ne ku nswera;olirinnyirira empologoma ey’amaanyi, n’omusota.14“Olw’okuba nga njagala kyendiva muwonya;nnaamukuumanga, kubanga amanyi erinnya lyange.15Anankowoolanga ne muyitabanga;nnaabeeranga naye mu biseera eby’akabi.Ndimuwonya era ndimuwa ekitiibwa.16Ndimuwangaaza n’asanyukaera ndimulaga obulokozi bwange.”