Zabbuli9lug_bib
Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa okujjukira Okufa kw’Omwana. Zabbuli ya Dawudi.
1Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama n’omutima gwange gwonna;nnaayolesanga ebikolwa byo eby’ekitalo byonna.2Nnaasanyukanga era nnaajagulizanga mu ggwe.Nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo.3Abalabe bange bazzeeyo emabega,beesittadde ne bazikiririra mu maaso go.4Kubanga owagidde ebiŋŋwanira, n’ensonga zange;era otudde ku ntebe yo ey’obwakabaka n’osala omusango mu bwenkanya.5Waboggolera amawanga, n’ozikiriza ababi;erinnya lyabwe n’olisangulirawo ddala emirembe n’emirembe.6Abalabe obamaliddewo ddala,n’ebibuga byabwe obizikirizza,era tewali aliddayo kubijjukira.7Naye Mukama afuga emirembe gyonna;era ataddewo entebe ye ey’okusalirako emisango.8Aliramula ensi mu butuukirivu,era alisalira abantu bonna emisango mu bwenkanya.9Mukama kye kiddukiro ky’abo abanyigirizibwa;era kye kigo kyabwe mu biseera eby’akabi.10Abo abamanyi erinnya lyo, Ayi Mukama, banaakwesiganga;kubanga abakunoonya tobaleka bokka.11Muyimbe okutendereza Mukama, atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu Sayuuni;mutegeeze amawanga gonna by’akoze.12Ajjukira n’awoolera eggwangaera assaayo omwoyo eri abo abanyigirizibwa.13Onsaasire, Ayi Mukama; otunuulire abalabe bange abangigganya,onzigye ku miryango gy’okufa.14Ndyoke nkutenderezenga mu lwatumu miryango gy’omuwala wa Sayuuni:era njagulizenga mu bulokozi bwo.15Abantu mu mawanga bagudde mu binnya bye baasima;era n’emitego gyabwe gimasuse ne gibakwasa.16Mukama yeeraze nga bw’asala emisango egy’ensonga.Omubi akwatiddwa mu mutego gw’emikono gye.17Ababi balisuulibwa emagombe;ebyo bye bituuka ku mawanga gonna ageerabira Katonda.18Kubanga abali mu kwetaaga tebalyerabirwa ennaku zonna,era n’ababonyaabonyezebwa tebaliggwaamu ssuubi emirembe gyonna.19Ogolokoke, Ayi Mukama, tokkiriza muntu kuwangula;leka amawanga gasalirwe omusango mu maaso go.20Bakankanye n’okutya, Ayi Mukama;amawanga gonna galyoke gategeere nti bantu buntu.