Zabbuli82lug_bib
Zabbuli ya Asafu.
1Katonda akubiriza olukiiko lwe olukulu olw’omu ggulu,ng’alamula bakatonda.2Mulituusa ddi okusala emisango n’obukuusa,nga musalira abanafu?3Abanafu n’abatalina bakitaabwe mubalamulenga mu bwenkanya;abaavu n’abanyigirizibwa mubayambenga mu bwenkanya.4Mulwanirire abatalina maanyi n’abali mu kwetaaga, mubawonye;mubanunule nga mubaggya mu mikono gy’ababi.5Tebalina kye bamanyi, era tebategeera.Batambulira mu kizikiza;emisingi gy’ensi gyonna ginyeenyezebwa.6Njogedde nti, Muli bakatonda,era mwenna muli baana b’oyo Ali Waggulu Ennyo.7“Naye mugenda kufa ng’abantu obuntu;muliggwaawo ng’abafuzi abalala bonna bwe baggwaawo.”8Ogolokoke, Ayi Katonda, olamule ensi;kubanga amawanga gonna gago.