Zabbuli8lug_bib

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

1Ayi Mukama, Mukama waffe,erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna!Ekitiibwa kyo kitenderezebwaokutuuka waggulu mu ggulu.2Abaana abato n’abawerewabawa amaanyi okukutendereza;ne basirisa omulabe won’oyo ayagala okwesasuza.3Bwe ntunuulira eggulu lyo,omulimu gw’engalo zo,omwezi n’emmunyeenyebye watonda;4omuntu kye ki ggwe okumujjukira,omuntu obuntu ggwe okumussaako omwoyo?
5Kubanga wamukola n’abulako katono okuba nga Katonda;n’omussaako engule ey’obukulu n’ekitiibwa.6Wamukwasa okufuga ebintu byonna bye wakola n’emikono gyo:byonna wabissa wansi w’ebigere bye,7ebisibo n’amagana ag’ebisolo byonna eby’omu nsiko,8n’ennyonyi ez’omu bbanga,n’ebyennyanja eby’omu nnyanja;era na buli kiramu kyonna ekiyita mu nnyanja.
9Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungiera kkulu nnyo mu nsi yonna!