Zabbuli56lug_bib

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Abafirisuuti bwe baamukwatira mu Gaasi.

1Onsaasire, Ayi Katonda, kubanga abalabe bange banjigganya;buli lunaku bannumba n’amaanyi.2Abalabe bange bannondoola,bangi bannwanyisa nga bajjudde amalala.
3Buli lwe ntya,neesiga ggwe.4Nditendereza Katonda ne nyweerera mu kigambo kye,ye Katonda gwe neesiga; siityenga.Abantu obuntu bagenda kunkolako ki?
5Olunaku lwonna bye njogera babifuulafuula;ebbanga lyonna baba basala nkwe kunkola kabi.6Beekobaana ne bateesa,banneekwekerera ne bawuliriza enswagiro zange;nga bannindirira banzite.7Tobakkiriza kudduka ne bawona;mu busungu bwo, Ayi Katonda, osuule amawanga.
8Emirundi gye ntawaanyizibwa nga njaziirana ogimanyi;amaziga gange gateeke mu ccupa yo!Wagawandiika.9Bwe nkukoowoola,abalabe bange nga badduka.Kino nkimanyi kubanga Katonda ali ku ludda lwange.
10Katonda gwe ntendereza olw’ekisuubizo kye;Mukama gwe ntendereza olw’ekisuubizo kye;11Katonda oyo gwe neesiga, siityenga.Abantu bayinza kunkolako ki?
12Ndituukiriza obweyamo bwange gy’oli, Ayi Katonda;ndikuleetera ebirabo eby’okukwebaza.13Kubanga emmeeme yange ogiwonyezza okufa.Ebigere byange tobiwonyezza okwesittala;ne ndyoka ntambulira mu maaso ga Katondamu musana nga ndi mulamu?