Zabbuli53lug_bib

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

1Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,“Tewali Katonda.”Boonoonefu, n’empisa zaabwe mbi nnyo;tewali n’omu akola kirungi.2Katonda atunuulira abaana b’abantung’asinziira mu ggulu,alabe obanga mulimu mu bo abamutegeeraera abamunoonya.3Bonna bamukubye amabegane boonooneka;tewali akola kirungi,tewali n’omu.
4Aboonoonyi tebaliyiga?Basaanyaawo abantu bange, ng’abalya emmere;so tebakoowoola Katonda.5Balitya okutya okutagambika;kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g’abalabe be.Baliswazibwakubanga Katonda yabanyooma.
6Singa obulokozi bwa Isirayiri bufuluma mu Sayuuni,Katonda n’akomyawo emirembe eri abantu be,Yakobo asanyuka ne Isirayiri n’ajaguza.