Zabbuli5lug_bib
Ya mukulu wa Bayimbi. Ya ndere. Zabbuli ya Dawudi.
1Otege okutu eri ebigambo byange, Ayi Mukama;olowooze ku kunyolwa kwange.2Wuliriza eddoboozi ly’omulanga gwange,Ayi Kabaka wange era Katonda wange:kubanga ggwe gwe nsaba.3Ayi Mukama, buli nkya owulira eddoboozi lyange;buli nkya ndeeta gy’oli okusaba kwange,ne nnindirira onziremu.4Kubanga ggwe Ayi Katonda, tosanyukira bibi:n’ebitasaana tobigumiikiriza.5Ab’amalala era abakola ebibi tobeetaaga mu maaso go:kubanga okyawa abakola ebibi bonna.6Abalimba bonna obazikiriza;Mukama akyawa abatemuera n’abalimba.7Naye olw’ekisa kyo ekingi,nze nnaayingiranga mu nnyumba yo:ne nkusinziza mu Yeekaalu yo Entukuvun’okutya okungi.8Onkulembere, Ayi Mukama, mu butuukirivu bwo,olw’abalabe bange,ondage ekkubo eggolokofu ery’okutambulirangamu.9Abalabe bange bye boogera tebyesigibwa;emitima gyabwe gijjudde bussi bwereere.Emimiro gyabwe ntaana eyasaamiridde:akamwa kaabwe koogera bya bulimba.10Basalire omusango gubasinge, Ayi Katonda;baleke bagwe mu mitego gyabwe.Bagobekubanga baakujeemera.11Naye leka abo bonna abakwesiga basanyukenga;ennaku zonna bayimbenga n’essanyu,obakuumenga,abo abaagala erinnya lyo basanyukirenga mu ggwe.12Kubanga, Ayi Mukama, omutuukirivu omuwa omukisa;era omukuuma, n’omwetoolooza okwagala ng’engabo.